Mutiibwa atutte eyali yaaya wa baana be e Bungereza n’amufunira omulimu
Jan 03, 2024
Omuyimbi Doreen Mutiibwa ne bba Kinene, batutte eyali yaaya wa baana baabwe e Bungereza ne bamufunirayo omulimu
By Grace Namatovu
Journalist @New Vision
Doreen Mutiibwa Kinene, yeewuunyisizza abawagizi be ne baffaani be bwe yakutte ssente n’aziteeka mu mwana muwala eyategeerekeseeko erya Juliana, n’amutwala ku kyeyo okukola mu kibuga London, mu United Kingdom.
Bakinene nga bali ne Juliana (asooka ku kkono) wamu n'abaana baabwe e Bungereza. (Ekifaananyi kya Mutiibwa)
Okusinziira ku bubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Facebook, Mutiibwa yafuna Juliana nga kawala kato emyaka 11 emabega era n’amulerera abaana be ebbanga eryo lyonna nga teyeekaanyizza yadde.
Yayongeddeko nti ye n’omwami we Michael Kinene, ekirabo kye baasazeewo okumuwa kwe kumugatta ku ffamire yaabwe eya ‘Bakinene’ era ne bamupakira ne bamutwala e Bungereza nga akasiimo, naye atandike obulamu obubwe ng’omuntu ate ng’omulimu si gwa kulabirira baana.
Doreen yannyonnyodde nti ekimukozesezza ekyo kwe kwagala okulaga abantu engeri entuufu gye balina okusiimamu bannaabwe ababakoze obulungi nga tebafuddeeyo ku ki kye bali, eddaala lye baliko oba gye bava.
“Weebale nnyo era weebalire ddala aunt Juliana, akola obulungi asiimiibwa”, Mutiibwa bwe yafundikidde obubaka bwe.
No Comment