Rema Namakula afuuka 'landlady' essaawa yonna!..
Jan 10, 2024
REMA Namakula abamuli okumpi bagamba nti puleesa y’endongo erabika emuyinze era ali mu nteekateeka z’obulamu bwe obulala.

NewVision Reporter
@NewVision
REMA Namakula abamuli okumpi bagamba nti puleesa y’endongo erabika emuyinze era ali mu nteekateeka z’obulamu bwe obulala.
Kino kyatandikira ku kugaana okuzza obuggya endagaano ne maneja we Kayemba Solomon n’asalawo akolenga ne mikwano gye.
Kati agaliwo galaga nti ali mu kumaliriza nnyumba ze ez’abapangisa ezisangibwa e Namugongo era ayagala kufuuka ‘Landiroodi’.
Abagaloba bagamba nti bw’anaazimaliriza, ajja kulekeraawo okuyimba mu bivvulu ebya bulijjo era essira waakulisa ennyo ku mikolo n’embaga omusinga okuva ssente.
Related Articles
No Comment