Etteeka ku mwenge lisitudde abayimbi okuliwakanya

Feb 29, 2024

Sarah Opendi, omubaka wa Palamenti ow’e Tororo ayagala etteeka liyisibwe nga mulimu obuwaayiro okuli; omwenge gulina kutundibwa wakati w’essaawa 11:00 ez’akawungeezi okutuusa ku ssaawa 4:00 ez’ekiro mu nnaku ezitali za wiikendi

NewVision Reporter
@NewVision

ABAYIMBI nga bakulembeddwaRagga Dee, ku Lwokubiri baakeera ku Palamenti okulaga obutali bumativu ku tteeka ly’omwenge eryasomebwa omulundi ogusooka mu Novomber w’omwaka oguwedde. 

Abamu Ku Bayimbi Abaabadde Ku Palamenti Gye Buvuddeko.

Abamu Ku Bayimbi Abaabadde Ku Palamenti Gye Buvuddeko.

Sarah Opendi, omubaka wa Palamenti ow’e Tororo ayagala etteeka liyisibwe nga mulimu obuwaayiro okuli; omwenge gulina kutundibwa wakati w’essaawa 11:00 ez’akawungeezi okutuusa ku ssaawa 4:00 ez’ekiro mu nnaku ezitali za wiikendi ate ng’eza wiikendi gulina okutundibwa ku ssaawa 11:00 okutuuka ku 6:00 ogw’ekiro era ng’amenye etteeka, asibwe emyaka 10 oba n’okutanzibwa obukadde 20.

 Abayimbi basitukiddemu nga bagamba nti etteeka lino linyigiriza abantu era ne batwalayo ekiwandiiko kye baatuumye ‘Culture and Creative Industry Position Paper on Alcohol Drinks Control Bill 2023’ nga muno mwe baatadde okwemulugunya kwabwe ku tteeka lino, omubaka Opendi ly’ayagala liyisibwe. 

Mu bayimbi ne bannakatemba abalala abaagenze ne Ragga Dee kwabaddeko; Hannington Bugingo, Phina Mugerwa, Ronald Mayinja, Emma Carlos n’abalala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});