OMUYIMBI Fik Gaza yeewozezzaako ku ky’okusala eddiiro n’adda mu NRM. Ono y’omu ku bayimbi ababadde bawagira ekibiina kya NUP era ng’abeera ne ku mikolo gy’ekibiina ekyo wadde nga abadde tannalaga nti oba ayagala kwesimbawo.
Wabula yalabiddwaako mu kifaananyi ekimu ng’ali ne Pulezidenti Museveni ng’ayambadde n’essaati y’ekibiina kya NRM. Olwabimubuuzizza, Fik Gaza yasabye abawagizi be obutafa ku kibiina ky’awagira wabula myuziki gw’abawa.
Yagambye nti abawagizi basaanye okukijjukira nti ebibiina by’ebyobufuzi bibaawula okusinga okubagatta, ekitali kirungi kuba basigala ba ggwanga limu.