Munnamawulire Andrew Kyamagero ali mu ddwaaliro
Apr 17, 2025
Ono aludde ng’atawaanyizibwa ekirwadde era kigambibwa nti y’ensonga lwaki yasooka n’awummuzaamu n’emirimu gy’amawulire.

NewVision Reporter
@NewVision
MUNNAMAWULIRE amanyiddwa nga Andrew Kyamagero bamulongoosezza. Ono aludde ng’atawaanyizibwa ekirwadde era kigambibwa nti y’ensonga lwaki yasooka n’awummuzaamu n’emirimu gy’amawulire.
Uncle Kyams, (omuntu wa wansi) abasinga nga bwe bamuyita yagenda kweyongerayo okusoma mu China ng’eno ekirwadde gye kyatabukidde ne bamuddusa mu ddwaaliro okumulongoosa okusiinzira ku bubaka obwateereddwa ku mikutu gye egy’omutimbagano.
Related Articles
No Comment