Ow'omu mambuka awangudde obwannalulungi bw'ebyobulambuzi
Sep 16, 2024
Mwana muwala Lucky Bianca Atino okuva mu mambuka ga Uganda awangudde eky’obwannalulungi w’ebyobulambuzi bwa Uganda 2024/2025.

NewVision Reporter
@NewVision
Mwana muwala Lucky Bianca Atino okuva mu mambuka ga Uganda awangudde eky’obwannalulungi w’ebyobulambuzi bwa Uganda 2024/2025.
Atino yamezze bawala banne abalala 28 ku mukolo ogwabadde ku wooteri ya Serena mu Kampala ku Lwomukaaga oluvannyuma lw’okuteekawo omutindo omulungi mu kuddamu ebibuuzo ebikwata ku by’obulambuzi mu Uganda mpozzi n’okumodola obulungi.
Victoria Ndamurani (ku Kkono) Eyakutte Eky'okubbiri, Lucky Bianca Atino Eyawangudde Ne Rachael Akidi Eyakutte Eky'okusatu.
Ku mutendera ogwasembyeyo, Atino yabadde attunka ne Victoria Ndamurani ow’e Bunyoro ng’ono yakutte kyakubiri kw’ossa ne Rachael Akidi ow’e Karamoja eyakutte eky’okusatu.
Abawala bonna 29 baasoose kujja ku siteegi nga bambadde engoye ezooleka obutonde bwa Uganda.
Baasomyeko abawala 10 abeeyongeddeyo ku mutendera ogwazzeeko nga obwedda buli lwe basoma ng’eno abawagizi abamu bwe beeraliikirira ate abalala nga basanyufu byansusso.
Abawala 10 baakomyewo okumodola oluvannyuma ne babuuzibwa ebibuuzo okulondako 5 abaabadde bagenda kumutendera oguddirira ogw’akamalirizo.
Abamu Ku Bantu Abaabaddeyo Nga Bawagira Be Baabadde Baagala Bawangule.
Olwabadde okusoma Atino ng’omuwanguzi, abawagizi abamu amaziga g’essanyu gabayiseemu abalala ne batema dansi nga bajaguza obuwanguzi bw’omwana waabwe.
Atino yatikkiddwa engule era n’aweebwa n’emmotoka ekika kya Fielder. Mu bubaka obwasomeddwa Minisita wa guno na guli mu offiisi ya Katikiro wa Uganda, Justine Kasule Lumumba, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yayozaayozezza abakontanyi bonna olw’obuvumu, okwekkiririzaamu n’okwewaayo okulaga obulungi bwa Uganda.
Yeebazizza abategesi b’omukolo olw’okuyambako mu kutumbula eby’obulambuzi mu Uganda era n’ategeza nti Gavumenti mmalirivu okulaba ng’essaawo embeera esobozesa ebyobulambuzi okwongera okututumuka.
Lumumba yasuubizza okutwala abategesi b’empaka zino okusisinkana Pulezidenti Museveni bamugambe okusoomoozebwa kwe balina.
No Comment