Bad black ayagala bamuzirakisa bamusondere eza sajale akole ku mubiri gwe

Ekiboozi ekitambula ensangi zino kya bassereebu naddala abakyala okugenda okubakolako ebitundu byabwe ebimu ku mubiri.

Bad black ayagala bamuzirakisa bamusondere eza sajale akole ku mubiri gwe
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Mubiri #Bad black #Sajale #Kusonda #Kukola #Surgery

Ekiboozi ekitambula ensangi zino kya bassereebu naddala abakyala okugenda okubakolako ebitundu byabwe ebimu ku mubiri.

Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad black asabye bamuzirakisa bamusondere agende akole ku bitundu bye.

Bad black agamba ennyindo yo tebagifaako gye yasooka okukolako kati abuzaayo akabina ne hipusi.

Mbu yandyagade naye okukola ku nyash nga bassereebu abalala olwo ekibuga akiteeke ku bunkenke.

Abamu bagamba alabika afunyeemu okutya  nti olugoye lw’embaga luyinza obutamunyumira.

Bad Black agenda kutongoza enkiiko z’embaga n’okwanjula kwe ne Slim Daddy omwezi ogugya.