Bagamba obutasoma buluma bukulu era mwana muwala Prima amaze n’apondooka n’addayo alye bbuuku mu bukulu.
Prima eyakazibwako erya Maama So agenze okusoma engeri gye boogeramu eri abantu (Public Speaking) ku essomero lya Kampala Public School of Speaking.
Emirimu egisinga mwana muwala ono agikoze wabula agamba kimuluma okuba nga ogw’okwogera tannagukolako.
Agamba ye saaawa omumwa aguggye mu kugeya banne wabula gumukolere ne ku kasente.