Kasalabecca

Kkwaaya y’e Bulindo ejaguzza omubaka Musisi n’agisiima

Kkwaaya y’e Bulindo ejaguzza omubaka Musisi n’agisiima

Omubaka wa george Musisi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KKWAAYA ya Queen of Apostles okuva mu kigo kya St. Joseph Balikuddembe Bulindo
Catholic Parish, ejaguzza okuweza omwaka bukya etandikibwawo n’eyita n’omubaka
wa munisipaali y’e Kira, George Musisi okugijagulizaako.
Kkwaaya yayimbye ennyimba ez’enjawulo ezisuuta omutonzi nga bwe basonda
ensimbi ez’okugula ennanga ya bukadde 10. Bagamba nti ebimu ku byuma bye bakozesa,
babyeyazika bweyazisi ne basaba abantu kubakwasizaako bagule ebyabwe. Omubaka Musisi yasonze ku ssente ezeetaagisa ne yeebaza abayimbi bano olw’okwerekereza
ne basalawo okuweereza Omutonzi. Yategeezezza nti abantu bwe bakwatira awamu,
kizibu okulemererwa.