OMUWABIZI wa Pulezidenti era akulira akakiiko ka State House Investors Protection Unit, Col. Edith Nakalema, ayambalidde eyali Miss Uganda, Stella Nantumbwe n’amulumiriza okunoba ewa bba, Said Bukenya n’agenda n’ebintu ebitali bibye.
Akatambi akali ku mikutu gy’oku mitimbagano kalaga Col. Nakalema ng’acoomera Nantumbwe nti yava mu maka g’omusajja ate n’atwala ebintu by’omwami nga yali yassaamu n’empapula za divosi okwawukana naye.
Ababiri bano, Bukenya ne Nantumbwe, baakola embaga makeke omwaka oguwedde (2025) era tebannayanukula ku luvuuvuumo nti baayawukana.
Col. Nakalema mu vidiyo, alaga okunyolwa eri Nantumbwe gwe yagasseeko ne nnyina, ng’agamba nti yakwatagana ne muwala we, n’ava ewa Bukenya n’ebintu. Nakalema, muwala w’eyali Omubuulizi, yakozesezza n’ennyiriri za Bayibuli n’agamba nti; “Nantumbwe Miss Uganda, Katonda yakuwa ettutumu n’ekitiibwa, omulabe sitaani ayagala okukukema okudduka n’ebintu by’omusajja. Omusajja yakwagala n’omwagala era n’omwanjula mu bazadde bo.
Nsaba Katonda akusonyiwe. Katonda akubeere weenenye. Katonda bw’anaaba ayagadde ojja kuddayo mu bufumbo bwammwe, Bw’oba tokyagala omusajja muddize ebintu bye,” Ebimu ku bigambo ebyabadde mu katambi, Col. Nakalema ke yalabikiddemu ng’ayogera