ROBINAH Shanti Namayanja Mubiru Bisirikirwa, oyinza okusalawo n’oku-muyita nnannyini kalaaca, amanyiddwa mu kuwujja abantu empi, mu buzannyo bw’assa ku mikutu gya yintanenti nga Tik Tok n’awalala.
Ono anyumya nti kuva mu ssomero nga muzannyi wa katemba, era nnyina yamutwala mu kibiina kya ba Ebonies mu 2017, bwe yali amalirizza S6 nga kati mw’azannyira.
Mu Ebonies baamumanyira nnyo mu muzannyo gwa Sedisiyosi Ompa, yalimu ng’omuwala gwe baatemula ne bamutemaatema ebitundu. Omuzannyo gwe yasooka okulabikiramu. Gwali guyitibwa ‘Egwalangwaawo’, yalimu ng’omuwala akola ku nnyonyi kyokka ku siteegi, yayitako buyisi mu sikonda.
Agamba nti abazannyi babiri b’azze yeegomba okuva mu buto ng’omu ye Victoria Nkabuye amanyiddwa nga Sophie owa Ebonies. “Natuuka ekiseera, nga Sophie bw’aba ku siteegi, mmanya ky’agenda okuzzaako nga tannnakikola era ne kiba. Okuzannya naye ku siteegi kimpa essanyu, nti ekirooto kyange kyatuukirira,” Shanti bw’agamba.
Omulala gwe yali yeegomba ye Laila Kalanzi Kacapizo. “Nnali nzannyeko naye lwakuba twali tuli ku ludda lwe lumu. Njagala mmusange ku siteegi nga twetwala; ali ludda eno nze ndi eri, mmulageko. Mu kufubutuka ebigambo ampangula naye mu kumuwuggya empi tasobola kungezaako,” Shanti bwe yeewaana.
Ono abantu bangi beebuuza oba ddala kyali mu mizannyo ne mu bulamu bwa bulijjo bwali! Ayanukula nti abantu kye bamulabamu kirina we kimuyambira ng’omuntu.