OKUZAALA kujaagana era mukyala Prossy Mayanja, maama w’omuyimbi Jose Chameleone, y’aloza ku buwoomi bw’enjogera eno. Ono agenze Tanzania ne mutabani we era kigambibwa nti, gwe mulundi gwe ogusoose okugenda mu ggwanga eryo ng’ayita waggulu.
Gye buvuddeko omuyimbi ono yagaana okugenda e Bungereza nga nnyina taweereddwa tiketi era abantu abamu kino baakisanyukira eky’okuddiza omuzadde.
Wadde guli gutyo, essaati Chamilli gye yayambadde ng’agenda, yayogezza abamu obwama ng’abamu bagamba yakula nga bbulawuzi nga bwe beebuuza nti, ate y’ani anti ‘madaamu’ we amanyiddwa baayawula dda.