OMUYIMBI Irene Ntale, akubye endongo ye layivu ku siteegi, esitudde abadigize mu ntebe ne batandika okunyeenyaamu ng’eno bwe bayimba naye ennyimba ze, ku woteeri ya Skyz e Naguru.

Ntale Ng'ayimba ku Skyz e Nagguru
Omuyimbi yataddewo embeera y’abadigize okubeera ku ye ng’obwedda ayimba nabo. Obwedda agira n’asirisaamu okuyimba abadigize ne bagattawo vvaasi wamma ne kinyuma.

Abamu ku badigize abaabaddeyo
Embeera gye yagenze ng’obudde bukula abantu endongo yayongedde okubakwata ku jjoba ne basituka mu ntebe zaabwe mwe baabadde beemiisiza emyenge egy’ebbeeyi n’ebyokulya olwo ne batandika okunyeenyaamu wadde ng’abalala baagazinidde mu ntebe mwe babadde.
Nga Ntale tannaba kubaka kazindaalo, aba D-Maestroz Band, baasoosewo ne bakuba abadigize endongo lukoba ku lukoba nabo abaabacamudde.

Abaabadde ku Skyz nga basaanuuse olw'omuziki.
Akawungezi kaabadde kasufu era abidigize abaasinzeeko baabadde baana bawala abanyirivu nga baabadde bambadde obuvaazi obusalawo.