WADDE waliwo ekirowoozo ekyaleetebwa mu kakiiko ka Palamenti akamu ku bibajje n’ababitunda, mwanamuwala Sandra Byenkya ye agamba teri kuzikiza. Sandra, akola nga maneja w’omuyimbi Irene Ntale era agukoze emyaka gyonna bukya omuyimbi ono ayawukana ne Swangz Avenue abaali bamutwala.
Ku gw’obwamaneja agasseeko buzinensi y’ebibajje era kati ebiseera ebisinga abimala mu wovulo. Kino buli omu akitapuse bubwe ng’abamu bagamba alabika alabye ng’ekijja mu maaso kiyinza obutaba mu kisaawe kya myuziki.