Kasalabecca

King Saha atumizza essimu ekoleddwa mu mannya ge

WALIWO enjogera etambula ennaku zino nti omuyimbi King Saha yandiba ng’ali mu biro bye mbu era buli ky’akwatako, kifuuka ‘zaabu’.

King Saha
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

WALIWO enjogera etambula ennaku zino nti omuyimbi King Saha yandiba ng’ali mu biro bye mbu era buli ky’akwatako, kifuuka ‘zaabu’.
Era ddala, waliwo n’abakikoonyeemu nti enjogera eyo, emugenderako bulungi ensangi zino anti w’osomera bino ng’omuyimbi ono amaze okukutula ddiiru ne kkampuni emu ekola amasimu e China, egenda okukola essimu bagituume ‘King’.

Essimu eno, yaakusereeza era egenda kujjira mu langi enzirugavu ng’erina kkamera biri emabega nti era yaakubeera ya buwangaazi.
Mbu baakukola kiraasi ez’enjawulo nga kiraasi esooka, yaakufuluma ng’omwaka guno tegunnaggwaako era yaakugula doola 100 zoka.
Kinnajjukirwa nti omuyimbi Jose Chameleone, gw’oyinza okuyita omusomesa wa Saha mu ndongo, naye yaleetako amasimu agayitibwa ‘Chameleone Phones’ wadde tegaalwa nnyo ku katale.

Tags: