🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Kasalabecca

Sheebah ali ChinaSheebah

ABAWAGIZI b’omuyimbi Sheebah Kalungi baludde nga bamwebuuza era bw’ataalabikako mu kuziika muyimbi munne, Moses Matovu ate ne bongera okumwebuuza.

Sheebah ng’ali e China
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAWAGIZI b’omuyimbi Sheebah Kalungi baludde nga bamwebuuza era bw’ataalabikako mu kuziika muyimbi munne, Moses Matovu ate ne bongera okumwebuuza.

Wabula okusinziira ku kunoonyereza kwe twakoze, Sheebah tali mu ggwanga nga yagendako e China okusuubula.

Sheebah emyaka gyonna azze alaga nga bw’ayagala okuwummula okuyimba ayingire obusuubuzi era yakigezaako ne Holic Pads kw’ossa n’okukola ebbaala n’eryato eripangisibwa.

Agaliwo galaga nga bw’azzeemu okugoba ekirooto kino era y’ensonga eyamututte e China yeetegereze era yekkaanye bizinensi gy’agenda okutandika. Mbu essira omulundi guno alitadde nnyo ku by’okwewunda by’abakyala n’ebintu by’abaana.

Tags: