KASSIM Lubega gwe tumanyi nga Yung Mulo, yategese ekivvulu kata kimwettire nga enjogera y’ennaku zino bw’eri.
Yung Mulo okuva mu kibiina kya Bad Man Gadget, yabadde Munyonyo mu kivvulu kye yatuumye ‘The best Of Yung Mulo Season 2’ era n’afunayo abantu be abatonotono.
Ziza Bafana, omu ku bayimbi abaamuwerekeddeko bwe yalinnye ku siteegi, yayambalidde abatazze naddala abeeyita ab’enkyukakyuka, nga tebawagira bantu bwabwe. “Wano we tubadde tulina okulagira enkyukakyuka kuba Yung Mulo wa maanyi,” Bafana bwe yagambye ne yeetondera Yung Mulo olw’ebyo ebyamutuuseeko