Kasalabecca

Bannalotale ettabi lye Maya badduukiridde abantu be Nakawuka Parish

Bannalotale ettabi lye Maya badduukiridde abantu be Nakawuka Parish 

Bannalotale ettabi ly'e Maya nga bagaba ebintu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Joseph Innocent Ssenfuma 

Nga bweri enkola ya Rotary okuyamba n'okudduukirira abantu ne Rotary club y'e Nakawuka nga eno etondeddwawo Rotary club y'e Maya eddukidde abantu b'e Nakawuka n'ebintu omuli engoye, engatto n'ensawo zomungalo.

Bannalotale ettabi ly'e Maya nga bagaba engoye

Bannalotale ettabi ly'e Maya nga bagaba engoye

Bannarotary ettabi ly'e Maya nga bali wamu ne bannarotary b'e Nakawuka abazaliddwa ab'e Maya bakunganidde e Nakawuka ku Parish okugabanako n'abantu b'e Nakawuka ku ebyo byebalina.
Bano babetikidde ettu omubadde engoye ez'abaana, ezabakyala neza abaami nga kwotadde engatto n'ensawo  nga bino babibawadde mu mutima gwabwa sseruganda.

Ssentebe wa Rotary club y'e Nakawuka etanaba kutongozebwa mu butongole Luweesi Eric anyonyodde ku bintu bino byebagabidde abatuuze era nakuunga abantu abalala okubegatako bayambe kwabo abetaaga okuyambibwako.

Abarotarry ettabi ly'eMaya nga bagaba ebintu

Abarotarry ettabi ly'eMaya nga bagaba ebintu


Ye President wa Rotary club y'e Maya Kenneth Kasule akubirizza abantu okwetanira okuyingira rotary yona gyebali okusobola okukyusa ku bulamu bwabalala.
Twogedde ne bannarotary abalala nebabaako ne byebatunyonyola ku buwerezza bwa Rotary n'omugaso gwayo mu kitundu
Tags: