JOSE Chameleone bukya akomawo okuva e Bulaaya, tafugika. Yabadde ku bbaala ya Torino wiiki ewedde, nga yeesaze engatto y’akakondo olwo abadigize ne batandika okwekuba obwama nga bwe beebuuza dizayina we.
Engatto eno, eyagala okwefaananyiriza ez’abakazi wabula ye Chamilli yacoomedde abamwogerako n’ategeeza nti engatto zino zaaliko mu myaka gy’e 70, kati azikomezzaawo era yaleese emigogo egiwera. Engatto zino baziyita amannya agawera okuli; Men’s Freddy 1970 mbu era zigula buwanana