Omukazi yandizimbye enju nga tabuulidde bba?
Nov 25, 2022
KU mulembe guno ng’abakyala bangi abakeera okunoonya ensimbi, bangi batuuse ku ssa ly’okubaako bye beekolera ng’abakyala.Wabula twebuuza nti omukazi yandizimbye enju nga tabuulidde bba?

NewVision Reporter
@NewVision
KU mulembe guno ng’abakyala bangi abakeera okunoonya ensimbi, bangi batuuse ku ssa ly’okubaako bye beekolera ng’abakyala. Ate abamu ssente ze bakozesa ebintu bino bazifissa ku z’akameeza abasajja ze babalekera okulabirira awaka.
Abakyala abamu baguze poloti n’okuzimbamu emizigo mu ssente zaabwe ze bayita ‘ez’ekikazi’. Wabula oluusi abakazi kino bakikola ng’abaami baabwe tebamanyi. Waliwo abazimba ewaabwe gye babazaala, ng’asangiddwa baamuwaayo ekibanja oba ettaka n’azimba okwo naye nga taata w’abaana tamanyi.
Waliwo omusajja gwe banyumyaako eyapangisanga ennyumba ya mukyala we, naye nga tamanyi nti maama w’abaana ate ye landiroodi!
Abakyala bakola kino abamu bagamba nti, ssinga omusajja amanya nti olina ku kasente era n’otandika n’okuzimba olwo ng’obuvunaanyizibwa abweggyako ng’abukulekera.
Mwajjuma Nassali W’e Kyengera;
Abamu bw’amanya nti olinayo emizigo gy’osolooza, olwo ng’ebyokugula ebikozesebwa awaka abivaako, kubanga abeera amanyi nti olina ssente.
Waliwo n’abasajja abatuuka okusala olukwesikwesi okukkakkana ng’omukazi ennyumba gye yazimba agitunze, ate oluusi ssente zonna omusajja n’azitwala ng’amulimbyerimbye.
Naye ate waliwo abasajja abaagaliza bakyala baabwe era nga bw’amugamba nti alina w’ayagala okuzimba, asobola n’okumwongerezaako ku ssente, naye abakyala abasinga baagala nnyo okukola ebintu nga bino mu nkukutu. Wano we tuggye ekibuuzo kyaffe ekyaleero nga tubuuza nti; Omukyala yandizimbye ennyumba ng’omwami we takimanyiiko.
Ali Kigongo Ow'e Bombo
ALI KIGONGO w’e Bbombo; Nze omukyala owange buli kyenkola akimanyiiko kati ye bw’azimba ennyumba nga simanyi kitegeeza abeera tanneesiga era we nkimanyira tubeera tugenda kuvaawo bubi nnyo ddala.
MWAJJUMA NASSALI w’e Kyengera; Kisinziira enkwatagana yammwe n’omwami wo bw’olaba ng’omutima gwe bw’onoomugamba nti ozimba teguuzimbe mugambe ayinza n’okukwasizaako.Naye bw’olaba ng’omutima gwe munafu zimba nga tomugambye okwewala entalo olw’ennyumba gye weezimbira.
Shamim Nakato e Lweza; Kituufu omukazi okuzimba ennyumba nga tabulidde ku bba. Abasajja b’ennaku zino balina ensaalwa ku bakazi baabwe naddala bw’alaba ng’alina ke yeekoledde. Oluusi bw’omugamba, obutabankuguko we buva, amaka ne gataddamu kutereera. Azimbye nga tamugambye asinga, okwewala endooliito.
No Comment