Ebika by'okwenywegera 5 ebusumulula muno obuswandi mu kisenge

Mar 19, 2024

Guno nga bwe guli omuko gwa ssenga, twagadde tusoggole okwenywegera kw’abafumbo okubatuusa mu kikolwa ky’okwegatta.

NewVision Reporter
@NewVision

OKWENYWEGERA kirungo ky’omukwano era abamu bakukozesa ng’emmanduso ebatwala mu kazannyo. Wabula kulimu ebika ng’ebimu mwattu si bya mu kisenge era nga bikolebwa ne mu lujjudde okulaga munno nti omwagala nnyo.

Guno nga bwe guli omuko gwa ssenga, twagadde tusoggole okwenywegera kw’abafumbo okubatuusa mu kikolwa ky’okwegatta. Ggwe alina omwagalwa naye ng’ebyokwenywegera bikuwunyira ziizi, wasubwa dda.

Okumu ku kwenywegera okw'emimwa ku mimwa.

Okumu ku kwenywegera okw'emimwa ku mimwa.

 Kojja Aniwalu Ssegirinnya amanyiddwa nga Kojja Kansiiwa, omukugu mu nsonga z’omukwano agamba nti okwenywegera kusumulula omuntu n’abeera mwetegefu okunyumya akaboozi.

Okunoonyereza okwakolebwa ku kwenywegera mu 2013 kulaga nti buli abaagalana lwe beenywegera, wabaawo okwetabula kw’ebirungo mu bwongo ne kufulumya ekirungo
ekiyitibwa ‘oxytocin’ abamu kye bayita ‘love hormone’ oba ekirungo ky’omukwano.

Kino kyongera ku sipiidi y’okumatira, munno n’abeera ng’akulinako akakwate akayitirivu. Nti era ekirungo kino, kye kiyamba abasajja abamu, okwekuumira ku mukyala omu olw’enkolagana eyo eba ereeteddwa wakati we naye nga tasobola kumuvaako.

Ebimu ku bika by’okwenywegera mulimu
1. Okunywegera omumwa ku mumwa: Wano mubaamu n’olulimi ku lulimi buli omu n’awulira munne mu busomyo.Osobola okutambuza olulimi munda mu kamwa ka munno nga bw’oluzannyiikiriza nga bw’oyagadde nga naye bw’akola ekikunyumira.

2. Okunywegera mu bifo by’ekyama; Mu bakyala, bakiyita kugwa bbakulu ate mu baami, bakweyitira kunuuna sswiiti. Wano guba mumwa, n’ekitundu ekyo ky’oba onywegera nga bye biyising'anya. Abamu bw’omunywegera mu kitundu ng’ekyo, akwesiga nnyo ate nga naawe oba omulaze nti omwagala nnyo, n’omusumulula buli katundu ka mubiri gwe naye n’akwewa.

3. Okunywegera ku bulago: Omu ku mmwe aba akikoze, abeera ng’akutegeeza nti ajja kukwetaaga munyumye akaboozi ak’ekikulu. Oluusi omwamwi wo ayinza okukunywegera nga yaakava ku mulimu n’okitegeera nti akwetaaga oba ggwe omukyala okukikola, munno n’amanya nti oli mu bwetaavu.

4. Okunywegera ku bbeere: Kifo ekirimu ennyonnyogeze era buli lw’onywegerawo omwagalwa wo, omusitula obwagazi olw’ennyonyoogeze eziriwo. 

5. Okunywegera ku kkundi; Ekifo kino kya kwegendereza nnyo anti oyinza okukolerawo ensobi ate n’olumya munno. Omwagalwa asalawo okukunywegerawo, aba mwegendereza nnyo era ng’akufaako anti akikola yebbirira aleme kukulumya. Wano we wava okusitula obwagazi bwo n’owulira ng’oli mu bire.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});