"Nagendako ew’omulenzi nga simugambye ne ntuukira ku muggalo! yasanga nsumagirira ku mulyango

Aug 05, 2024

"Amaka agalimu Katonda ge ganyuma okubeeramu"

NewVision Reporter
@NewVision

Bannyabo mugyebaleko, wamma ku mmwe abatudde wano ani gwe bayita Afaayo?

Ye nze, obadde ogamba ki?

Abazadde nabo balimbamu! Kati omuwala omulungi nga ggwe baali tebasobola kukutuuma linnya lya Malayika oba kale Nakimuli okuggyayo obulungi ekifaananyi kyo?

Nze Mable Afaayo Nabunje.

Afaayo Ng'anyumidde Mu Kateeteeyi Akaddugavu.

Afaayo Ng'anyumidde Mu Kateeteeyi Akaddugavu.

Lino erya Afaayo, baakuwa ensonga lwaki baalikutuuma?

Litegeeza nti Yesu afaayo era ndi mukyala Mulokole.

Haa... obuzibu buzze! Ne bye mbadde ngenda okukugamba oba mbireke?

Ate obuzibu buzze butya?

Nze naganzaako omuwala nga Mulokole, naye ng’oyinza okugamba nti ye ‘next of kin’ wa Yesu!

Hahaha, wamusangamu buzibu ki?

Nga kimu bibiri, ekyo Yesu takyagala, Yesu yang'ambye olabika olinayo omuwala...., bannange!

Naye amaka agalimu Katonda ge ganyuma okubeeramu.

Kati ggwe ng’oggyeeko okuweereza Yesu, mulimu ki omulala gw’okola ogukuwa ensimbi?

Ndi mulondoozi wa bulango bw’amawulire mu kkampuni emu, ndi mmodo ate nga ndi muzannyi wa ffirimu.

Ali atya omwanattu, Yesu gwe yakulaga nti ye mutuufu yekka...?

Siri mufumbo.

Saagala onnimbe kuba eddiini tekikkiriza?

Sisobola kukulimba kuba nange saagala muntu annimba ate n’okunsuubiza n’otatuukiriza kinnyiiza.

Kale kati mpaako ku bisaanyizo by’omusajja ali mu birowoozo byo, gwe wandyagadde Mukama akutuuseeko?

Njagala atya Katonda, ng’ansinga emyaka n’okulowooza, nga yasoma, nga mulungi, ng’ayambala n’anyuma, ng’alinamu ku ssente ate nga…...

Eeee, koma awo. Gamba kimu nti toyagala Yesu akufunire kuba omuntu olina ebisaanyizo ebyo byonna oyinza kumuggya wa eritali ggulu?

Nze by’ebyo bye njagala, buli muntu weetaaga okubeerako n’ebiruubirwa mu bulamu n’obigoberera okubituukiriza.

Ng’oggyeeko okusaba Katonda akuwe omusajja alina ebisaanyizo by’ompadde waggulu, kintu ki ekirala ky’omusaba buli lw’ofunye akadde?

Katonda mmusaba ankuumire maama wange, musawo Alice Deborah Namuwuulyo.

Eyo tusooke tuveeyo. Lunaku ki lw’otogenda kwerabira mu bulamu bwo nga buli lw’olujjukira oseka ne weebuuza kye waliko?

Biri biswaza, sisobola na kubinyumya mu bantu...

Omulenzi wo oli gwe wasembayo okwagala nga tonnaba kusalawo kukkiriza Yesu okuba omulokozi wo, kiki ekyabatabula?

Omulenzi yannema okutegeera! Yali tammuka bulungi, twalema okukwatagana obulungi ng’ebigendererwa bye tebikwatagana na byange.

Nga waakasooka okubeera mu mukwano, kyabulalu ki kye wali okoze naye ng’okikola lwa mukwano?

Nagendako ew’omulenzi nga simugambye ne nsaga nga waggale, yasanga ku mulyango  ng’asumagira.

Nzirayo ku kitebe kya Vision Group awali Bukedde Olupapula lw’amawulire oluganzi, naye bawala banno be naasanga mu kkubo mbagambe nti obawaddeyo bubaka ki?

Bawala bannange mbasaba babeere n’ebiruubirirwa mu bulamu, bakozese obulungi bwabwe okwekulaakulanya ate bakulembeze Katonda mu buli kye bakola.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});