"Okunsuubiza n'ototuukiriza kintabulira ddala"

Dec 18, 2024

"Tokola nsobi kwatula nti olina ky’ogenda okunkolera, sirika olinde okutuusa nga weetegese waakiri okimpe nga sapulayizi."

NewVision Reporter
@NewVision

Muwala eggulo wakinkoze! Nakukubidde essimu n’ogaana okugikwata ate nga wansuubizza okumpaayo akadde twogere...
Nze bwe mbeera ku mulimu sikwata ssimu.

Wabadde oηηambye nti obudde obwo ogenda kubeera ku ppate..
Omulimu ogwange gwakuweereza ku mikolo era nabadde ku ppate nga sirina budde bwa ssimu.

Prossy Ng'anyumidde Akateeteeyi.

Prossy Ng'anyumidde Akateeteeyi.

Ate luli waηηamba okyali muyizi ku yunivasite e Makerere?
Eyo gye twasinziira ne tukola ekibiina kyaffe eky’abaweereza b’oku mikolo. Tukola ku wiikendi kwokka, ennaku endala mbeera nsoma.

Ku ppate mukola bukozi mirimu ne munnyuka?
Ffe tukuba ebinyonyi bibiri n’ejjinja limu kuba tunyumirwa bwe tusasulwa.

Biki ebisinga okukunyumira?
Bw’eba mbaga, akaseera ak’abagole nga beesogga ekidaala kabeeramu ebbugumu. Beeyagala ne bandeetera n’ekinyegenyege eky’okufumbirwa.

Genda mu maaso mpulira...
Babugaana essanyu naawe n’owulira ng’ayagala kugwa mu mukwano ng’olaba kye kintu ekisinga okubeera eky’omuwendo ku nsi.

Olowooza kiki ekisinga okunyweza omukwano mu baagalana?
Okuzimba omukwano ne guggumira, n’okulonda omuntu omutuufu.

Omuntu omutuufu y’aliwa?
Alina okuba ng’ayogeza bikolwa nga mu buli kimu ky’akola, ggwe gw’asoosa ate nga muli akuleetera okuwulira nga ggwe omuntu ow’omuwendo era asinga okwagalwa.

Wamma luli kye nava nakusanga n’olulenzi olugoogofu nga muli mu kulya ‘ice cream’
Oyo akoma ku kya kubeera mukwano gwange era tutera okutambulako naye era kw’olwo twali tusazeewo tugendeko mu kafo ak’enjawulo tunyumyemu nga bwe tulya ne ku ‘ice cream’

Biki ebikunyiiza?
Okunsuubiza ekintu n’otokituukiriza kintabula era omukwano gwange naawe gufiirawo.

Naye ate bwe mbeera nnemereddwa olw’embeera eteebeereka?
Tokola nsobi kwatula nti olina ky’ogenda okunkolera, sirika olinde okutuusa nga weetegese waakiri okimpe nga sapulayizi. Awo ne bw’olemererwa tekimpisa bubi kuba mbeera sikimanyiiko.

Mbuulira ku linnya lyo
Nze Prossy Akatukunda enzaalwa ey’omu disitulikiti y’e Sheema.

Katonda omwebazaako ddi okukutonda ne ka simayiro ako!
Buli kadde ke nfuna njogerezeganya n’Omutonzi nga mpita mu ssaala ate ne ku Ssande ηηenda ku Klezia okumwebaza.

Beerako obugambo bw’osuula omusomi wa Bukedde tuve wano
Mu byonna by’okola olina okwesoosa, ate sanyuka onyumirwe buli kadde konna k’obeera ofunyeewo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});