Omusajja atannasasula za ffiizi munaazeeko nga bbebi omumaleko situleesi

Feb 04, 2025

AKASEERA k’okuzza abaana ku ssomero kamu ku bisinga okusoomooza bazadde naddala mu January kuba embeera teba nnyangu nnyo olw’ensonga nti mu December ssente zisaasaanyizibwa nnyingi.

NewVision Reporter
@NewVision

AKASEERA k’okuzza abaana ku ssomero kamu ku bisinga okusoomooza bazadde naddala mu January kuba embeera teba nnyangu nnyo olw’ensonga nti mu December ssente zisaasaanyizibwa nnyingi.

Naye mu kifo ky’okweraliikirira oba okuvuma omwami wo nga ffiizi ziruddeyo, lowoozaako ku ngeri endala.

Ssenga Barbra Nangendo akutegeeza nti abakyala abamu bayomba ng’alaba ennaku ziggwaayo tebamuwa ffiizi z’abaana be olwo omusajja bw’aba alinayo abakyala abalala n’alyoka omulangira nga ssente bw’azimalira mu bamalaaya
naye ekibuuzo kiba nti tosobola kukyusaamuko mu ngeri gy’osaba ffiizi?

Nangendo agamba nti abasajja baagala ebitiibwa era bw’oyiga okwekkakkanya n’osiima nti ku Ssekukkulu alina kye yankolera awo w’otandikira. Ne bw’aba yagula kkiro y’ennyama emu, tandikira ku ekyo ekitono omugambe nti; “Mwami ku Ssekukkulu weebale kuyiiya na kati tusaba oyiiye era tukusabira ofune ne ffiizi zirabike abaana baddeyo ku ssomero...”

Bw’akomawo mwanirize ne bw’aba talina wadde ekitabo ky’omwana ky’akomyewo nakyo era mutegeeze nti embeera naawe ogiraba si nnyangu naye oliwamu naye.

Mujjulire bulungi era bw’olaba ali mu birowoozo, muleetere ku giraasi y’amazzi oba akatunda bwe kaba weekali anyweko omubuuze oba musobola okwogeramu era omubuuze ku by’alowooza, musalire wamu amagezi ng’abaawamu.

Bwe mumala okwogeramu, osobola n’okumunaazaako bw’aba ayagadde n’omubikka nga bbebi n’akkakkanya ebirowoozo n’amanya nti awaka awulirirawo emirembe kuba abasajja baagala ewaka awali emirembe.

Bwe kiba kyetaagisa mugwe mu kifuba ng’akabonero akalaga nti oli wamu naye mu mbeera yonna.

Oluusi abaagalana tebeetaaga kunyumya bunyumya kaboozi ka kikulu okukuuma omukwano oba obufumbo wabula basobola n’okuwaanyisiganya ebirowoozo naddala mu mbeera ya kazigizzigi ate ne kibayamba okwekuumira awamu n’okwesigang'ana n’okwongera okutegeera munno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});