"Nnyumirwa okwekolera ssente ezange"

Mar 07, 2025

"Ndi muwala omuto ayagala ennyo okukola nga siweereddwa!."

NewVision Reporter
@NewVision

MPULIDDE bakuyita Nnaalinya, ddala kituufu oli Mumbejja?
Omumbejja abeera afaanana atya ekimwawula ku balala?

Abeera mubalagavu! Nsanyuse okukulaba era bye mbadde nnoonya mu kibuga ka mbigule wano nkuwagire...
Onkoze obulungi obutagambika!

Ndeete ki?
Ka tusooke tuwayeemu. 

Nnaalinnya Bw'afaanana

Nnaalinnya Bw'afaanana

Nze Kayemba, ggwe baakutuuma mannya ki?
Nze Princess Joan Nnaalinya, mbeera Lubaga mu Kampala.

Simanyi ggwe omu ku bawala abakweka emyaka gyabwe?
Egyange sinnatuusa kugikweka. Mu June, ng'enda kuweza 23.

Ntandike okubanja omuko, oba?
Nkyakola ssente ndyoke ndowooze ku by’omukwano.

Mpozzi otunda ki?
Ntunda ngoye naye nnina n’emirimu emirala gye nkola okuli okulima n’okutunda sipeeya.

Watandika otya okweyingiza mu byobulimi?
Bw’oba onoonya ssente, tolina kusosola mirimu.

Wasoma biki ebyo bye wasalawo okuleka, okole ebirala?
Ndi munamawulire omutendeke.

Okozesa ki ku kasusu ko?
Olwange luzaale teruliimu wadde akazigo naye okulukuumira mu mbeera ennungi, ng'endako mu jiimu ne nkolamu obutagejja.

Olowooza kiki ekikufuula omuwala ow’enjawulo ku bawala abalala?
Ndi muwala omuto ayagala ennyo okukola nga siweereddwa!.

Bawala banno batera kukola mize ki egibaswaza?
Abawala simanyi gye baggya mize gy’okwagala abasajja abazeeyi! Osanga omuwala n’ayagala omusajja ali mu myaka gya jjajja we. N’abamu banywa omwenge ne bayitako ne bafuuka ebyeneena.

Simanyi naawe wali opererezeddwaako omusajja atuuse okubeera jjajja wo?
Eriyo abasajja abakulu abateewummuza Tebataliza na bazukkulu baabwe.

Kika kya musajja ki, ow’ebirooto byo?
Omusajja atya Katonda ate nga si mumpi kuba nze ndi muwanvu.

Bubaka ki bw’owa bawala banno?
Babeere bakozi, omukazi alinamu ku kasente, tasobola kujoogebwa musajja ne bw’aba afumbiddwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});