Ssente y'ekikazi by'esaanye ekole awaka

Mar 11, 2025

Nnaabafumbo Birungi ayogedde ku ssente y’ekikazi by’ekola. Bino wammanga bye bintu ssente y'ekikazi by'akola

NewVision Reporter
@NewVision

Nnaabafumbo Birungi ayogedde ku ssente y’ekikazi by’ekola. Bino wammanga bye bintu ssente y'ekikazi by'akola

Omukazi bw’obaamu ne ssente y’ekikazi, n’obaako akagoye k’olabye nga kalabika bulungi keegulire nga tolinze kuzisaba musajja.

Bazadde bo bwe baba balina kye beetaaga, kwata ku kasente k’ekikazi omale ensonga zaabwe kuba si buli kikwata ewammwe nti balo y’alina okukimala.

 

Olumu abasajja tebagula nnyo bintu nga masowaani, ebikopo, giraasi n’ebirala era abakyala abategeera tebatawaana kunyega basajja wabula babyekolera.

Birungi agamba nti ate era kikyamu omusajja okukkiriza omukyala okwekolera ate omukyala bw’afunamu ku ssente, n’atandika okufutyanka omwami we ne yeewaggula nga takyagambwako. 

Omukazi ne bw’abeera ne ssente ennyingi, omusajja asigala gwe mutwe gw’amaka ng’alina okuweebwa ekitiibwa.

Ssenga Mayimuna Namukasa agamba nti abasajja abamu basuula obuvunaanyizibwa bwabwe n’afubutuka okuva awaka ku makya, nga taleseewo wadde ekikumi ekirabirira ffamire ye.

Omukyala bw’atunuulira embeera bw’eti, tayinza kukkirizza baana be kufa njala ng’alinayo akasente k’oku luwuzi era akasikayo n’aliisa ab’omu nju ye.

Kyokka era oluusi omukazi bw’aba akyali mu nnyumba mpangise, omusajja n’alemwa okusasula ez’obupangisa, ssente ye esobola okuva ku luwuzi, n’etereeza embeera.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});