Abalongo bansudde mu katego ne banfunza
Apr 08, 2025
ABEETABYE mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja mwebalekujjumbira wakati mu kire ky’enkuba ekyayiise. Nange Sandra waabwe nabaddennina okukiika, ate nze ani ayinza okusubwa okulaba ku Mutanda nga yeeyoleseeri abantu be.

NewVision Reporter
@NewVision
ABEETABYE mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja mwebale
kujjumbira wakati mu kire ky’enkuba ekyayiise. Nange Sandra waabwe nabadde
nnina okukiika, ate nze ani ayinza okusubwa okulaba ku Mutanda nga yeeyolese
eri abantu be.
Enkuba eyatukubye ate teyansudde mu katego k’Abalongo. Omanyi Kato yansaba mbagulireyo emijoozi gy’emisinde. Saasobodde kugibatwalira ne tukkaanya tusisinkane ku misinde we tubeera twambalira. Natidde okuvuga mmotoka nga nsuubirayo
ka jaamu n’okubulwa we nnyinza okugisimba olwo kwe kukozesa booda. Abalongo bbo bazze bavulumulanti owange ddiiru gye twasasula Sandra obukadde bwa ssente y’essaawa ekutulwe.
Nnakyala navudde mu kinaabiro nga nneesibye ttawulo era olwabadde okwesowolayo, ‘room’ mwe nnalese omuntu omu nga ndaba babiri. Essaawa eyo nnanoonyezza ekiddako nga sikitegeera kwe kubuuza Wasswa bw’atuuse awo ng’ate yagambye nti alina by’agenze okumaliriza nga byakutwala essaawa eziwerako. Wano Wasswa yayanguye nti sirina kutya kuba abadde naye azze okutwegattako oku- Toyota-Hilux ziri
engulumivu. Nga tudduseeko ekiwera Kato ne Wasswa baaleese ekiteeso tugende
tunywemu ku caayi olw’empewo eyabadde etuyiseemu. Twagenze ku wooteeri emu nga wano abalongo we baakoledde omupango. Wasswa ye yabadde avuga era olwatuuse
ku wooteeri, nze ne Kato ne tuvaamu olwo Wasswa ne yeeyongerayo nga yeefudde alina gw’agenda okusisinkana mbu ajja kutukima mu ssaawa nga bbiri kuba bye baabadde
bagendako nga biwanvu.
Engeri gye nabadde nsigadde ne Kato saafunye kutya, kyokka olw’engeri gye twabadde tutobye nga n’ebisooto bitusammukidde, Kato yaleese ekiteeso ky’okufuna ekisenge ku wooteeri tusooke tunaabeko.
Nze n’engoye mwe nnakyusirizza baaziguze u dduuka eryesudde mmita nga 100 okuva ku wooteeri. Engeri ku luli gye nalabamu Kato ng’atya ‘okulya’ ekintu kyonna ku
mulongo munne, saafunye kwekengera anti olwo nga Wasswa agenze. Caayi baamwanguyizza nze ne nsooka ntabulamu ekikopo mbugumye omubiri. Kato
ye yang’ambye nti kaasooke yeeyiweko amazzi agabuguma olwo nze ne nt bula lucaayi olw’amata okwabadde sosegi, ssumbuusa ne capati. Kato olwavudde mu kinaabiro nange kwe kwesiba ttawulo ne nkyesogga. Okunaaba kwantwalidde eddakiika nga 5 era ndowooza wano Kato we yabagulizza ku munnwoomerwa kacaayi.
Wakati mu kubutaabutan oba nzireyo mu kinaabiro oba ntambule mukungujjo okutuuka awali engoye, omunyolo gw’oluggi gwakutte mu ttawulo gye nabadde neesibye okukkakkana ng’eri ku ttaka ate jjukira mu kuva mu kunaaba nabadde buswa nga n’akabikka omulalu temuli. Nakomye kuwulira nga bagamba
nti ‘wowooooooo.’ Ddiiru y’Abalongo n’ekutukira awo.
No Comment