EGGANDAALO ly’okulonda kumpi erimaze ennaku ennya, libabaddemu ebirungi n’ebirumira ku ludda lw’abaagala n’abafumbo. Ensonga enkulu mu kino yatandikidde
mu nkola ya Gavumenti ey’okuggyako yintaneeti eyasazeeko emikutu okuli WhatsApp, Tik tok, X eyayitibwanga Twitter gattako mobile Money ng’abantu tebasobola kuggya ssente ku ssimu okufuna kaasi.
Abamu ku baagalana embeera eno yabasanyudde nnyo nga bagamba nti bannaabwe basobodde okubawa ku budde bulijjo bwe bamalira ku mikutu gya ‘Social Media’.
Abakyala abamu baategeezezza nti baasoboddeokufuna obudde okulongoosa
awaka naddala mu bisenge byabwe ne beggyako ebintu ebitakyabagasa, okweggyako
nnabbubi ku bisenge waggulu n’ebirala.
Ng’oggyeeko abakolera bizinensi ku ssimu oba guyite omutimbagano abaakoseddwa
olw’emirimu gyabwe okwesiba, akaseera kano kaawadde abamu okwefumiitiriza ku bye balina okukolera ffamire zaabwe ate nga kyatuukidde mu kiseera ng’omwaka gwakatandika.
EYATEZE MUKAZI WE AKAMASU MUSANYUFU
Waliwo omwami omu gwe tusaba naye ku Ssande eyannyumirizza nti akaseera kano yakafuniddemu essanyu eritagambika: Kennedy agamba nti bulijjo abadde yeetamwa dda engeri ‘Madamu’ we gy’atwalirizibwamu Tik tok ne WhatsApp. Mbu ayinza okubibeerako okuva lw’atuuka awaka n’ayingira mu biseera by’ekyeggulo ne
yeeyongerayo ne mu kisenge mu kiseera ky’okwebaka oba we bandibadde babaako ne kye beekolera mu nsonga z’obufumbo. Mbu bino byawaliriza n’omukyala okwawula obuliri afune ebbeetu okwegazaanyiza oba kuyite okunyumirwa emikutu gino.
Kennedy yannyonnyodde bwati: “Omanyi munnange abadde takyampa budde nga ne bwe njagala okumwejavaana yeekwasa nga bw’atali mu mmuudu, olulala nti ye yabikoowa olwo ne nzira mu kwekomomma. Omanyi eby’okusika omuguwa oba okukozesa ekifuba bwe bituuka ku Mutaka’, nga yeeveera. Olwo ne ntambuliranga mu kutya nti ssinga nkozesa ekifuba ne bigaana olwo ng’eyanjalula tesiridde! Embeera
eno yantuukako dda bwe nnayagala okukavvula ku kifuba kyokka okwenyoola kwe twayitamu, okwandibadde ng’okutuuka ku lyengedde ate ‘Mutaka’ n’abivaako era ekyaddirira kwali kumpalabula na kunjerega nti lwaki mmumalira ebiseera nga mmanyi nti ndi ‘Nsindika njake’!
Ku luno nnamuteze kakodyo ka kunaaba nga twakeesogga kisenge. Engeri obwongo gye nnabussizza ku ky’okumukalakata, nnavudde mu kinaabiro nga ndi buswa ate nga nneegaludde ng’omutayimbwa. ‘Of course’ waliwo n’obwabadde bunnyongedde ku mbavu ne ndaba ‘Madamu’ ng’anneetegereza, tanzigyako liiso. Nneesiimudde ne ttawulo nga bwe nkyusakyusa‘Mutaka’ aswakidde. Eyabadde
antunuulirira mu sayidi nnagenze okulaba ng’akyuse atunudde waggulu olwo nga ‘Night’ gy’asulamu agisise ezze mu kiwato nga bwe yeekwata mu ngeri y’okweteeka mu mmuudu. Nange nnalumbiddewo olwo olulimi n’engalo ne bikola ogwabyo era ekyaddiridde kumukalakata ate mwattu n’anyumirwa ebitagambika.
Engeri gye nnabadde nneerunze, ensiitaano yatwalidde ddala ekiseera okukkakkana nga n’akagoba amazeemu ekyali kyasemba okubeerawo ng’omukwano gwaffe gukyali mu mwaka ogusooka. Okumanya nkyatendereza eggandaalo, enkeera ku Lwokutaano
Madamu’ ye yanneesoose nga tetunnalowooza ku kya kugenda mu kisenge nti oba nnaasobola okumwongeramu ‘Laawundi’. Eyookubiri nayo yabadde ‘mawa’
ate n’adda mu kumbuuza gye nnaggye amaanyi agaamusumuludde ttaapu zonna.’’ Wayinza okubaayo n’abalala abaafunye essanyu nga erya Kennedy.
ABASAJJA OKUBEERAKO AWAKA KYASANYUDDE ABAKYALA
Mu birala abamu ku baagalana bye baganyuddwa mu ggandaalo ly’okulonda nga bannaabwe tebali ku mikutu gya Social Media, kwe kubafumbira ku mmere,
okubagololera ku ngoye n’ebirala. Mu bakyala abaasanyuse mulimu abaategeezezza nti embeera yawalirizza abasajja okubeerako awaka ekiseera ekiwera ne baman a bye bayitamu naddala ku byetaago by’awaka. Nti kino yabawonyezza okukwata ku ssente yaabwe ey’ekikazi
Abataanyumiddwa bye baabaddeko
Abasajja abamu baabadde mu kwemulugunya nti abakazi baasussizza okubakanda ssente mu kugula ebyetaago by’awaka. Baategeezezza nti engeri gye babadde baakava mu ggandaalo ly’ennaku enkulu, ensawo zaabwe tezaabadde nsanyufu bulungi. Kuno bwe kwegasseeko obutasobola kuggya ssente ku ssimu mu nkola ya Mobile Money, ne gujabagira. Mbu abamu baabadde ku ‘kasuwa’ okutegeeza nti basigazza akasente katono ddala kyokka ng’abakyala babakanda okugula eby’awaka kwe bagasse n’abawummuze abamu be baagambye nti balya ng’obusaanyi! Bagamba nti
bw’otosiiba waka ate n’odda kiro, osanga ebimu ku bye bandikusabye biyise.
Bwe gwatuuse ku baayingidde eggandaalo nga bali mu lusirika oba nga baliko essungu lyabwe, bannaabwe baabafuukidde omugugu gwennyini. Ab’engeri eno
bagamba nti bwe kubeerako ‘Social Media’ obudde babutwaliriza
nga bali ku mikutu olwo bwe bakoowa ne beesogga obuliri. Wabula ku mulundi
guno WhatsApp ne Tik Tok we bitaabeereddewo, baabadde ku musaalaba kuba kumpi ennaku bbiri babadde basiiba waka ate ne bazibizaawo.
Mulimu abasajja abeekokkola bakyala baabwe abayombi n’abeekwasa buli kasonga ne babawalabula! Bano bagamba nti n’oky’obutamuwa budde ng’aliko ky’amubuuza nakyo kiyinza okumuyombya.
Abuulirira abaagalana awabudde
Abuulirira abaagalama n’abafumbo, Edith Mukisa agamba nti emikutu gya Social Media gittattanye amaka mangi nga waliwo abaagitamiira nga tebaagala kugivaako mpozzi nga bw’olaba oli atava ku mwenge.
Mukisa yategeezezza nti abantu abalwa ku mikutu gino ne bwe babeera bagivuddeko, gibasigala mu bwongo nga balowoza ku bye balabye oba be babadde boogerezeganya nabo ky’agamba nti kiremesa bangi okuwa bannaabwe obudde mu nsonga z’omukwano era kitabudde n’amaka. Agamba nti ekiseera kino eky’eggandaalo ly’okulonda kiteekwa okubaako be kiyambye okuddamu okukwatagana mu nsonga z’omukwano, emirimu n’okuddukanya amaka kuba babadde n’obudde okukola bino nga tebatwaliriziddwa mikutu gya Social media.