NAZZIKUNO, eky’okunoba kyalinga ku bakazi bokka wabula kati n’abasajja banobera ddala. Basajja mmwe mukikoze ate ne mukisussa!
Ng’omusajja otandika otya ‘okunoba’ amaka n’ogalekera omukazi? Era mwagala n’engero zikyusibwe anti Abaganda baageresa nti; “Yeeyogeza ng’olwanobako nti, ‘baleete omwenge bannone’, nti, ‘olubereberye baaleeta mazzi?’
Omukazi bwe yanobanga, ne bamuperereza okudda ewa bba, ng’abamugambako okuddayo abaanukula nti baddemu batwale akita ky’omwenge ewaabwe kyokka nga bwe yali afumbirwa, baba baakiwaayo. Wano kwe kumubuuza nti oba gwe baasooka okumugula tegwali mwenge nga yeetaaga kuddamu okugulwa omulala.
Bino bya dda, era abasajja ‘abanoba’ ennaku zino batunuulirwa mu ngeri egamba nti
oba n’olugero olwo lukyusibwe luve ku bakazi bokka, n’abasajja lubagendereko. Kuba ddala, omusajja, ssemaka, omutwe gw’amaka oba ovudde ku ki okunoba? Senga Joyce Tomusange omukugu mu nsonga z’amaka n’obufumbo agamba nti abasajja abanoba ennaku zino, abamu baba baagala kukuuma mirembe. Edda omukazi yali tasobola kugalula luyi akube omusajja, era ng’omwana omuwala ng’abaamu akagamba nti banaamulaba batya ng’akubye omusajja. Kyokka ennaku zino abaana abawala abamu ‘bannakawanga’, bakuba abasajja era abasajja abaagala okukuuma emirembe basalawo ‘okunoba’. Tomusange agamba nti olumu bino biva ku byogero ebinaazibwa abaana abawala n’abalenzi. Abazadde abamu baddira emiti gy’eddagala egyaligenze mu kyogero ky’omulenzi ne babissa mu ky’omuwala ekibameza amampaati ne beewulira nga abasajja. Ne ku balenzi bwe gutyo. Babateeramu emiti gy’abawala ekibaviirako okufuuka engajaba n’okunoba ne banoba, ekivve eri omusajja. Ssenga Tomusange akoonye ku bintu ebirala, ebiviirako abasajja okunoba; 1. Ennaku zino abakazi bassaamu kinene: Tomusange agamba nti edda abasajja tebaanobanga olw’ensonga nti omusajja yabeeranga ku ttaka lya kitaawe, ennyumba ng’asooka kugizimba yekka olwo n’alyoka awasa omukaziEnnaku zino bikyuse weesanga ng’ettaka baaligula n’omukazi nga n’olumu omukazi y’assizzaako kinene kati omusajja n’atuuka okujoogebwa n’okunyigirizibwa n’alaba ng’okunoba kye kisinga kuba abeera talina buyinza bumala ku ttaka n’ennyumba mwe basula.
2. Empisa z’abasajja ez’okwagala ono n’oli: Omukazi kimuyisa bubi ng’omwami we afunyeeyo omukazi omulala. Kyokka era Tomusange alambulula nti obuzibu we businze okuva kwe kubeera ng’abaami baagala okuwasa abakazi abangi ng’amaanyi gaabwe matono. Atuuka ekiseera ng’omukazi gwe yasooka okuwasa alaba takyalina ky’ayinza kumukolera n’asalawo okunobera ew’omulala. Ssenga Tomusange agamba nti ate embeera eyongera okujabagira ng’omukazi y’ayenze. Abasajja bangi kino tebasobola
kukigumiikiriza era basalawo okuva awaka.
3. Amateeka: Ennaku zino amateeka gali nnyo ku ludda w’abakazi era kizibu omusajja
okuwaabira omukazi bwe wabaawo obutakkaanya mu maka nga buvudde ku ye (omukazi).
N’omusajja atya nti banaamuwulira batya nga y’aloopye. N’ebitongole ebirwanirira abakazi bingi. Omusajja bw’abalamu nga buli kimu kigwa ku ludda lwa mukazi n’alaba ng’okunoba kwe kusinga.
‘ERIYO ABAKAZI ABASINDIIKIRIZA ABASAJJA BAVE AWAKA’Kojja Bryan Ssemanda abudaabuda abaagalana agamba nti embeera y’ensi ekyuse era esindiikiriza abasajja abamu okunoba mu maka ge beezimbira. Eriyo n’abakazi abasindiikiriza abasajja nga bakozesa ebikolwa, ebigambo n’ebirala. Ssemanda agamba nti abasajja abamu bakoowa oku-laajana olw’abantu be baaleeta mu maka ate okubamalako emirembe ne basalawo okunoba. “N’abakazi baagunjaawo enjogera, egamba nti ffe tetukyanoba, omusajja y’alina okukuviira,” Ssemanda bw’agamba.
l Obujoozi bw’abakazi abamu abeekolera ne bafuna ssente: Abasajja abamu banoba ne bajuliza obujoozi bw’abakazi. Abasajja abamu bagamba nti abakyala abamu bwe bafuna ku ssente, mu kifo ky’okuzikozesa okwezimba ng’abaagalana, bafuuka bannantagambwako abamu ne bajooga n’abasajja. Abakazi bano beeraba ng’abasobola okwetuusaako buli kimu ne bwe bataba na basajja. Ekiva mu kino, be basajja okuviira
abakazi bano naye nga mu njogera ennyangu, baba banobye
‘Abasajja muzimbe ennyumba eriko ekisinge mwe musobola okunobera’ Ssenga Tomusange agamba nti si kituufu omusajja okunoba.
Edda ng’omusajja tanoba kuba, abasajja baazimbanga amaka gaabwe nga beetegekedde embeera eno era ne ku luno, abasajja balina okuddamu okukitunuulira nga bazimba ekifo we basobola okunobera. Mu kuzimba, omusajja alina okuzimba ennyumba omuli ebisenge okuli eky’abaana abalenzi n’abawala, eky’abazzukulu n’ekya maama abeera anobye. Ekisenge ky’omusajja yekka, kiyitibwa Gandalyasajja, kibeera mu nnyumba gy’azimbye nga tekiyingirwamu mukazi yenna. Mu kino, omusajja bw’awulira ng’embeera emususseeko nga mw’anobera.
Omusajja abeera mu kisenge kino ng’awaka waali naye nga talinnya mu kisenge kya mukazi we. Era avaayo kulya mmere bw’amala ng’addayo mu kisenge kye. Teri mukazi gwe basobola kusiriikirira nnaku 7, n’akigumira. Bw’alaba embeera etabuse ng’agenda ewa ssenga ng’amuloopera.
Kino kiyamba omusajja okubeera nga si y’aloopye. Omukazi bw’aloopa ewa ssenga, ajja mutuule mu nsonga ne muzimalawo.
Nazzikuno, ekisenge kino tekyakomanga kuyamba musajja ayagala kunoba naye n’abo abasajja abasala ebiyungu ky’abakoleranga. Singa embeera etuukawo ng’omukazi gy’olina okubeera okusinziira ku biyungu kye, alwadde,n okwewala okutabika ebiyungu ogenda mu kisenge kino.
Noolwekyo Ssenga Tomusange awabudde abasajja nti okwewala ‘okunoba’ baddeyo ku nzimba z’amaka ez’edda nga ku nnyumba, omusajja abaako n’ekisenge ekikye mw’asobola ‘okunobera’ singa embeera emusukkako.