OLUMU mpulira nga njagala kuva mu by’okuwagira omupiira olwa puleesa n’obunkenke bwe mbeerako nga ttiimu yange bagitwala oba ng’eremeddwa okuteeba we kyetaagisiza. Eno y’embeera gye nabaddemu ku Ssande ekiro nga mpagira Spain eyatutte ekikopo.
Omupiira gwanyumidde mu bbaala emu e Bukoto era gye gwaggweeredde nga bansitudde mu bbanga okunjozaayoza olwa ttiimu yange okuwangula ekikopo kya World Cup. Wabula abasajja manya abavubuka nga bwe bateebuulirira, mulimu ab’effujjo abansozze engalo egindi mbu nga bannanga kubasaaliza olw’engeri gye nnabadde nneesaze obuwero.
Okugenda gye nnalabidde omupiira nneesaze obugoye bwe nzize nneegomba ku bamu ku baana bawala nga bwe babadde balabika mu bisaawe nga bawaga olw’engeri abazannyi baabwe bwe babadde bakikuba. Eno nasanzeeyo abawagizi ba Spain abalala
nga nabo bali mu mijoozi gye ttiimu ate abalala nga beesaze gya Argentina. Ku ssaawa nga 3:30 ng’omupiira gubuzaayo eddakiika nga 30 gutandike, baataddewo empaka z’omuwagizi asinze okushanana era abamu ku bagagga abaabaddewo beekozeemu omulimu ne bakung’anya obukadde busatu ziweebwe omukyala asinze okunyuma. Mu kusooka nnalabise nga ndi mu ka jjiini akampi ak’ekinu nga kungulu ntaddemu omujoozi. Abaavuganyizza twabadde ‘badeemu’ bana ng’ababiri ba Spain nga n’ababiri
abalala ba Argentina.
Twatandise okunyumirwa endiba era engeri obwedda Spain gye yeefuga omupiira nga ndabira ddala nti ttiimu yange y’ejja okuwanika ekikopo. Wabula ng’eddakiika 90 zinaatera okuggwaako nnakulabidde obukenke ng’aba Spain beebuuza ekiremesezza ttiimu yaabwe ‘okutegula’ wabula nga n’aba Argentina batandise okufuna essuubi nti singa bagenda mu peneti, obuwanguzi baakubwetikka.
Ekitundu ekisooka ekya ‘Extra Time’ nga kiweddeko emitima gy’awabagizi nnalabye nga gyeyongedde okubeewanika. Wabula mu kitundu ekyokubiri nga kitandika ekya Extra Time’, Torres yategudde ku ludda lwa Spain olwo abawagizi ne ‘tufaaaaaaaaa’. Ddiifiri olwafuuye ffirimbi envannyuma, omujoozi ogwabadde
kungulu ne ngwambulamu ne nsigala nga bw’ondaba olwo enduulu n’edda ku ‘Sandra, Sandra, Sandra… okukikubye... sexy, sexy….’ Nnakulabidde amaaso nga gavudde ku ttivvi ne gadda ku Sandra abasajja ne balookalooka! Wano nnasaliddwaako abavubuka be saategedde gye baavudde abansitudde mu bbanga ne batandika okumbuusa mu bbanga. Mu kavuyo kano nagenze okuwulira nga waliwo abansogga engalo, abalala nga bali mu bithambi. Waliwo n’eyakunukkirizza emabeere okukkakkana ng’ankosezza, omugole w’oku mbaga kwe nnabadde meetulooni, we yannumye. Nnatandise okubeesikako era bakanyama b’oku bbaala be bantaasizza. Mukubaddukako waliwo
be nnawulidde beewaana nga bwe bankutte ku bithambi abalala nti ‘ngikutteko.’ Oluvannyuma nga bali mu kuteekateeka okugaba emidaali n’ekikopo eri abawanguzi, abaabadde mu ntegeka y’okulonda omuwagizi asinze okunyuma mu bbaala we twabadde baakubye akalulu mwe nnawangulidde kumpi ebitundu 80 ku buli 100 ng’asinze okushanana. Nnayiiseemu omudidi gwa bukadde busatu wabula abagagga nnabalabyenga baliko kye baagala okuteesa.
Omu yampadde haaga olw’okuwangula, yansonsese akapapula mu mabeere okwabadde
ennamba ya ssimu ye n’ebigambo nti ‘Please call me when you are free’ (nkubiraako mu budde bwo obw’eddembe). Kale nnanyumiddwa World Cup.