Ssenga

Omusajja takyakwagala mwesonyiwe

OMUSAJJA akulaze nti takyakwagala era olina okumuviira. Kiki ky’atakukoze? Omulimu gwe awaka, kwegatta naawe kyokka. Ate omusajja okwegatta naawe tekitegeeza nti akwagala. Omusajja asobola okwegatta n’omukyala atunda omubiri gwe ng’akikola lwa bwagazi sso si mukwano.

Ssenga wa Bukedde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUSAJJA akulaze nti takyakwagala era olina okumuviira. Kiki ky’atakukoze? Omulimu gwe awaka, kwegatta naawe kyokka. Ate omusajja okwegatta naawe tekitegeeza nti akwagala. Omusajja asobola okwegatta n’omukyala atunda omubiri gwe ng’akikola lwa bwagazi sso si mukwano.
Era eriyo n’abakyala abeegatta n’abasajja nga tewali mukwano wabula okufuna ssente. Abalala abakikola kweggyako bwagazi naye nga tebabaagala.

Omwami wo, omulimu gw’akola awaka, kwegatta naawe naye tekitegeeza mukwano. Talina ky’agula waka n’ennyumba mwe musula, gwe eyagizimba. Buli ekirimu kikyo okuggyako engoye  ze. Talina wadde kkalaamu gy’agulira mwana, ggwe alabirira abaana bo okuva ku fiizi, kulwala, kulya n’ebintu byonna. Ate ye n’asalawo okuganza mikwano gyo, abakozi b’awaka n’okuleeta bakazi mu nnyumba yo. Kati atandise kukukuba mbu  omuviire. Olaga wa ng’ennyumba yiyo? Mwesonyiwe ate akuviire
mu maka go kuba gwe wagazimba. By’owoza mbu banaakulaba  batya, obulumi bw’olimu bunene. Obufumbo tubwagala naye bw’olaba tolina mirembe ng’omuntu gw’oli naye takuwa mirembe olina okumwesonyiwa.Obulamu bubwo, oyo omusajja
w’atuuse agenda kutwala ebintu by’abaana bo ng’olaba. Ogamba nti ogenda kumuviira, ogende wa ng’ennyumba yiyo. Amaanyi go  gonna ogamulekere? Olowooza bw’onoova mu nnyumba agenda kukwagala nnyo? Omusajja ono  olina kumutwala ku poliisi kuba
alina emisango mingi gy’oli. Ekisooka talabirira baana be ate ng’akola, akukuba ate kati ayagala kukugoba mu nnyumba.
Ffe nga bazadde bo tugenda kukuyambako. Okubeera mu bufumbo nga tolina mirembe waakiri obuvaamu. Omwami wo twayogera naye tawulira eratagenda kukomya mpisa mbi.
Bw’atyo bwe yakula. Omukyala gwe yasooka okubeera naye yamuyisa bubi. Taasa obulamu bwo n’abaana bo.Omusajja ono alina okukuviira. Omwagala naye takwagala era mwesonyiwe.

Tags: