TOOLABE mulembe kukyuka abantu ne bagenda n’eby’Abazungu eby’okugezza obubina ebiyitibwa ‘Brazilian Butt Lift’ (BBL), nnazzikuno mu nkola y’Ekifirika, ng’omwana omuwala awundibwa kuva buto n’akula nga mujjuvu era n’atuuka okufumbirwa nga buli kimu akirina nga talina ky’ayaayaana kukyusa ku mubiri gwe.
Brazilian Butt Lift, kigambo kya Lungereza ekifunzibwa nti BBL, abawala b’ennaku zino gye bakola ne babakolako sajale okugezza akabina. Abalala bagezza bitundu birala nga ebbeere, hipusi, ettama (ly’oku kaabuwala) kyokka era waliwo n’abayita awo ne batuuka e buziba ne baagala okugezzaayo. Naye obadde okimanyi nti omuzadde, omwana omuwala lw’azaalibwa, w’olina okutandikira okumuwunda n’akola ebbina, obunnya bw’oku mugongo, n’omuwunda ekiwato n’entumbwe era agenda okukula nga byebyo byennyini ebirina okubeera n’omuwala. Era ne mu kuvubuka, olina by’osobola okumugattako n’atuuka okufumbirwa ng’enkola z’ekizungu ez’okwongera okumulabisa

Abaagalana mu mukwano.
Kikulu okuzza omubiri gw’omwana kuva buto: Nnyiikira okuzza omubirigwe nga yeebase, ng’omuwumbawumba n’atasuula magulu ludda na ludda. Kino kimuyamba okukuuma ebbugumu lye ery’obutonde kuva buto nga ne mu bukulu, akula nalyo erimuyamba ng’afumbiddwa.
l Nga muto, omwana omuwala omusiba embira mu kiwato, ezimuyamba okwawula ekitundu ekya waggulu ku kya wansi era mu bukulu beebo abawala be boogerako nti balina ‘wato’ era ng’afumbiddwa.
abeera asobola okunyoola ekiwato kye ng’atuuse mu kazannyo. l Era omusiba obuwuzi
ku mikono n’amagula n’ayawula.
l Mu buto muno, era maama bw’aba azadde omwana atalina bunnya bw’oku kabina waggulu, asobola okubuwundako. Maama addira engalo ze bbiri n’anyiga obunnya
buno waggulu w’akabina ke, n’annyikiza entakera. Buno mu bukulu, buba kusanyusa
bba mu kisenge.
l Ennaaza y’omwana omuwala, eyawukana ku y’omulenzi. Omuwala tebamulwisa mu mazzi galeme kumuyingira.

Aisha Namutebi
OKUGENDA MU NSONGA
Abaganda, omwana omuwala okugenda mu nsonga baakulinda nga mbaga era nga bamuyisa nga mugole. Baamuliisanga obutiko obubaala nga babukozezza mu ttooke omutali munnyo era ku lunaku olusooka nnyina lw’atandika ne bamubalira ennaku ze baagala amale mu nsonga. Edda baakozesanga emmuli kuba ze baazimbisanga ennyumba kyokka katiabakyakikola babala bbulooka okuva ku musingi gw’ennyumba.
Maama n’omwana batuula ne balannama, n’omulinnyako ekigere kimu nga bw’akiteeka ku kisenge ku nnyumba. Maama abala bbulooka z’ennyumba okuva ku bbiri obassatu okusinziira ku nnaku z’ayagala, omwana we amale mu nsonga. Kino kyayamba omuwala obutalwa mu nsonga era bw’akula n’afumbirwa, n’atassa bba njala ya mu kisenge.
EMMERE: Edward Kisitu agamba nti abaana abawala babawanga nNyo endaggu ezibawa amaanyi ne bakula nga bakozi.
MU ANKOLE
Mable Musimenta agamba nti mu Ankole, omwana omuwala ng’azaaliddwa, bumunaaza akaddo ka ‘nabbugira’, olweza, kafugankande ne omukunda mu nnakuezisooka nga yaakazaalibwa.
Bw’omala okunaaba lino, bamunogera ensugga y’oku kubbo ne bagiyenga okutonnyeza
mu buwala ng’eno kiwanuuzibwa nti omusajja yenna bw’akwagalako takukyawa okuggyako nga ggwe omukyaye.
Ku myaka nga 12, omuwala baamunogera eddagala ng’olutungotungo ne baluyengaokugattamu obushera mu mazzi agabuguma ne bakuwa n’onywa ekyongera okuteekateka omwana okubeera n’ag’emugga ng’akuze.
Omuwala bw’akula, baabakubirizinga okunywa obushera nga babutabuza amazzi agabuguma.
Chality Tusiime ayongerako nti obushera, kikulu nnyo ku mwana omuwala okusinga n’amata kuba go, gatera okusiba olubuto ate nga obushera bulusumulula. Amata ne Bongo nago gaaweebwanga abaana abawala nga bakula ne babeera ba ba namazzi mu bukulu. Baawanga abaana emmere egonda ng’amatooke, obummonde, n’omuzigo okugonzaemibiri n’amazzi agalimu ne gassammuka.
Era abawala mu Ankole, baweebwa Ekishamututu; ne bakula nga bamiima.