Ssenga

Bawala bange bwe muba n’omukisa ogukola mukole

MWANA wange okutuula awaka tekiyamba maka ennaku zino. Munno agezezzaako okulaba ng’ofuna ky’okola naye byakulema. Ennaku zino abasajja abasinga baagala abakyala abakola.

Ssenga wa Bukedde
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MWANA wange okutuula awaka tekiyamba maka ennaku zino. Munno agezezzaako okulaba ng’ofuna ky’okola naye byakulema. Ennaku zino abasajja abasinga baagala abakyala abakola.
Mumanyidde obulamu obw’okusowola naye ate abasajja baakyusaamu bagaala abakyala abakozi.

N’abasajja abalina ku ssente era osanga mukyala we nga naye alina by’akwasaganya amaka okutambula obulungi. Kati gwe mwana wange okimanyi bulungi nti omwami wo talina ssente nnyingi era okwongeza ku ssente mu maka, naawe olina okukola. Naye ate ggwe olowooza nti alina ssente nnyingi.
Kati bizinensi ssatu ze yaakakuwa zigaanye. Yasooka kukuwa ssente eza saaluuni n’ekulema ng’abakolamu be bafunamu nga toyagala kubeerawo kulaba ssente bwe ziyingira nga n’amagoba ogakozesa bibyo ogongera mu bizinensi.
N’omugamba oyagala kulunda nkoko waka nazo ne zirema ne bizinensi y’engoye
enkadde nayo yagaanye.
Kati oyagala bakukolere ki ayokya ssente za munno n’omala n’owoza nti bizinensi nzibu era kati ogenda kukola ki ekyangu? Teri bizinensi nnyangu era b’olaba abakola bizinensi
ne zikula, bateekamu amaanyi, amagezi n’obumalirivu.
Ekizibu ekirala ekiriwo baana bange mwagala nnyo ssente ez’amangu. Buli ssente mwagala kugifuna mu bwangu ate nga nnyingi. Bizinensi si bwe zitambula. Osobola okumala emyaka etaano nga tolina ky’ofuna mu bizinensi okuggyako okwongeramu ssente. Okutandika kufuna mu bizinensi olina okwewaayo okubeera mu mbeera embi nga tolina ssente nga buli k’ofuna okazzaamu. Mwe abaagala ssente mu bwangu bizinensi ebalemye okuggyako ng’oyagala kufuna ssente mu lukujjukujju. Ndaba okukola kukulemye. Omwami tagenda kuddayo kukuwa ssente oba oyagala kutuula awaka, olabirire abaana. Baana bange bw’oba olina omukisa ogw’okukola, kola.

Tags: