abaagalwa, k’abe mukazi oba musajja era buli kimu kiba kitambula bulungi naye oluleeta emboozi y’okubeera n’omuntu amuwase oba amufumbirwe, omuntu oyo tayagala, akyusa langi eragira ddala nti ekkubo ly’oyagala okukwata, talyagala.Innocent Kizza, Ssaabakiristu mu Klezia ya St. Paul e Mukono era ng’abuulirira abafumbo agamba nti obufumbo busobola okulabika nga obw’okukuluusana oba obw’emirembe okusinziira ku mbeera eriwo kuba bulimu ebiwonvu n’ebikko era kye kibuyisa obufumbo, omukka gubaamu naye ate omuliro gumala ne gutumbuka ng’era omuyimbi
Maureen Nantume bwe yabuyimbako.
Obufumbo bulina ebirungi bingi era egimu ku mirembe gy’ofuna nga ofumbiddwa oba ng’owasizza kuliko; Abantu okussaamu obwesige: Bw’oba oyagala okumanya obulungi ensonga eno gereza ku bintu bya bulijjo, abantu abeesowolayo okwesimbawo mu bifo
eby’enjawulo mu masinzizo ne mu bifo by’okulembeze eby’ensi, abafumbo baweebwamu ekitiibwa ekisukkulumu okusinga abatali.

Abaagalana mu ssanyu.
Ssentebe w’ekyalo bw’aba mufumbo ate ng’alina amaka agamanyiddwa ayanguyira abantu okumussaamu obwesige okukulembera ekyalo okusinga atali mufumboKizza ayongerako nti ne mu ffamire, omufumbo bamuwa ekitiibwa kuba baba bakwesiga. Mwannyoko tatya kukuwa mwana we kukukyalirako era amanya nti awaka waliyo omukyala oba omwami. Ne bw’aba mwannyoko yennyini, okukukyalirako tatya kuba amanya nti awaka eriyo omubeezi Bw’ozaala abaana, oba abaana bo, obawa omusingi omulungi okumanya amakulu g’obufumbo n’okubukuuma kuba obeera kyakulabirako ekirungi ate teri muzadde atayagaliza mwana we kufumbirwa oba kuwasa mubeezi mulungi.
By’ofiirwa nga weebalama obufumbo kyokka nga weeyisa ng’omufumbo Kizza agamba nti;
1. Omubeezi wo takussaamu bwesige: Bw’oba omuwala , olwo omulenzi oba omusajja akuganza akulaba ng’omuntu w’okwetaasizaamu.
2. Bw’ozaala omwana, enkuza y’abaana ebeera nnafu kuba n’omwana tosobola kumuwabula ku bufumbo kuba naawe obeera tobuliimu.
3. Kizza annyonnyola nti, okwekuumira mu bufumbo obutali butongoze, takirabamu kirungi okuggyako abo abatya obuvunaanyizibwa bw’amaka nti kyokka tosobola kubeera mu nsi nga tolina buvunaanyizibwa bwe weetisse.
EKIREETEDDE ABAVUBUKA OKWEKUUMIRA ENNYO MU NKOLA ENOl Kizza agamba nti eby’okulabira abantu ababeezi, byadibizibwa osanga abamu bandikakiddwa kuyingira obufumbo:
Edda baalabiranga abavubuka ababeezi okusinziira ku butya amaka gaabwe bombi bwe gali era mwabangamu enju ezitawasibwaolw’ensonga enneekusifu. Kati oli atomera butomezi ekivaamu ng’akyawa obufumbo kumbe yagwa ku muntu ava mu nju ezo eziboolebwa.
l Okwagala ebyenfuna: Abakazi abamu naddala bw’alaba omusajja nga si mugagga ku ye, takkiriza kumufumbirwa era anoonyayo omugagga olwo ne beeyisa nga abafumbo olw’okuba omugagga oyo alina ky’avaako.
l Omwenkanonkano: Kino kikosezza nnyo naddala abakyala kuba tebaagala kubasalirawo naddala nga balina ku nsimbi oba nga balina ku bitabo ebiwera. Okwenkanankana abasajja oba okubasingako abagutapuse obulala tebettanidde nnyo bufumbo.
l Obutali bwerufu: Abantu bakweka eby’obugagga era tebakyayagala kugatta byanfuna nga buli omu bw’aba ayagala akole ebibye abibeereko yekka kizibu okumusanga ng’ayagala okuwasa oba okufumbirwa
l Abaagalana nga benkana emyaka, tebatera kuwangaaza mukwano anti bombi baba beenyooma ate nga abasajja tebaagala kubanyooma so nga bw’ofuna akusingako obukulu ensonga ezimu era azikwata kintu kikulu.
l Abazadde obutalung’amya baananga batuuse mu myaka egifumbirwa oba okuwasa kuba ekisinze okuba ekibi abantu bangi bakuze na muzadde omu, ng’omulala teyali mu bulamu bwe.
AKABI AKOOLEKEDDE ABEEKUMIDDE MU MBEERA ENOKojja Kizza agamba nti akabi kakosa buli muntu aliraanye abantu abakyawa obufumbo kuba okwagala, obuntubulamu n’obukozi butandikira mu maka ng’atabyagala akosa abamuliraanye bonna. Obubi obulala obukirimu mulimu;
1. Singa bijja bubi omubeezi wo n’akufaako, oluusi nga waliwo enkulaakulana gye mubadde mukoze ababiri, oviiramu awo. Amawanga agamu geeyisa bulala mu mbeera eyo kuba baba tebakumanyi n’abaana basobola okubakumma n’otaddayo kubalaba.
2. Waliwo emirimu egisobola okukulema okutuukako lwa butaba mufumbo 3. Oluusi n’abaana boozaala basobola obutayagala kukukyalira singa oba musajja ng’olina baana
abawala. Kizza afundikira agamba obutafumbirwa ng’ate oyagala okweyisa nga omufumbo oba ofuuse kasobeza