MUKYALA, lwaki weesiba ku baana ba mukazi munno n’obafuula olusuku. Wayingira amaka ga mukyala munno ng’agenze ebweru okukola naye kati n’abaana b’omusajja oyagala kubafuula babo obafunireko.
\Omwami wo yakugamba nti abaana asobola okubalabiririra ewa jjajjabwe azaala nnyaabwe naye n’ogaana nti ogenda kubalabirira. Kati ofuuse nsonga, baakutwala ne ku poliisi olw’okutulugunya abaana abo.
Ennaku zino baana bange muyize okuwamba ebitali byammwe era mu maaso ogenda okulaba nga tebigenze bulungi.
Abaana wagaana babatwale ewa jjajjaabwe kuba oyagala kubaliirako sente. Walemwa okulabirira aba muganda wo ng’ali mu ddwaaliro