BALAMU bo ne nnyazaala wo, bagende mpola kuba obufumbo busobola okukulema. Omusajja gwe wafumbirwa bw’olaba tasobola kuyimirira ku magulu ge kukutaasa nga
waliwo olutalo wakati wo ne balamu bo, manya w’ogwa.
Bawala, muyingira amaka g’abasajja ne mulowooza nti muli ba kitalo nnyo. Omusajja bw’akulaga omukwano tekitegeeza nti abantu be yabakyawa. Baganda be, mikwano gye
era n’abazadde basigala bantu be. Ate naawe omukyala olina okusigala ng’oyagala abantu bo n’emikwano gyo kuba okuyingira obufumbo tekitegeeza kweggyako bantu kuba obeetaaga naddala mu biseera eby’essanyu n’eby’ennaku.
Ng’omukyala awaka olina okwaniriza abagenyi mpozzi gw’olaba ng’asobola okukolako obulabe mwewale era omugenda kitono. Naye ggwe toyagala muntu wa musajja yenna kukyala waka. Oleeta ennyombo ku buli muntu wa musajja naye ababo obaaniriza bulungi.
Abantu b’omusajja okimanyi nti alina okubayamba kuba y’alina ku ssente. Ate bw’abayamba aba takoze bubi kuba awaka buli kimu akikuwa.
Nnyina ye yamukuza era bwe yakula n’afuna akalimu n’akuza baganda be era kumpi y’alinga kitaabwe kuba kitaabwe yafa. Oluganda olwo kizibu ggwe omukazi okuluggyawo.
Bw’oyingira mu ffamire nga bali bumu ng’omanya olina okukolagana nabo. Ebyo by’owoza nti ago amaka gago ggwe alina okuwa mateeka, nedda nnyabo. Olina okumanya amateeka we gakoma.
Tebalina kukujooga n’osirika naye olina okufuna engeri gy’otambuza amaka nga toleese nsasagge. Oba nga bakyala bukyazi tebasulawo omwami n’amala ebizibu byabwe, ggwe obuzibu oba obusanga wa? Tolina buyinza bubagaana kujja waka kuba bali bumu ne mwannyinaabwe. Mmwe famire ye, abalabirira bulungi era ne famire gy’ava, alina okugirabirira kuba balamu bo bakyali bato, beetaaga obuyambi ne nnyina. Vva mu ntalo ez’obukodo, omwami tomulemesa famire ye. Osusse okuyombera emmere gye balya, n’okwagala okuleeta entalo