ABASAJJA tebaggwaayo mu nsonga z’okufunza omukazi bw’abeera amwegombye.
Ku Lwomukaaga luno oluwedde nkakasa abazadde bangi twabadde ku masomero, abamu nga bagenze okwetaba mu kusabira abayizi ba P7 abagenda okutuula ebigezo by’akamalirizo, abalala okulaba abaana baabwe ab’ebibiina bya wansi mu palayimale bwe bakola mu kibiina abasinga lwe baayise ‘Visitation Day’. Mukwano nange nabadde ng’enze ku ssomero lya mutabani wange ali mu P2.
Ku ssomero gye nnasanze muzadde munnange eyantokose ng’agamba nti mmussizza amabbabbanyi.
Ekyewuunyisa yabadde ne mukyala we nga tutudde tweseetula okugenda okulaba omusomesa.
Baabadde ne bbebi ali mu myezi nga musanvu naye alina we yatuuse n’akaaba nga nnyina alina okugenda mu mmotoka okuleeta ennywanto bamuwe amata. Omusajja kirabika yabadde naye mu mupango, omukazi amuweemu gaapu kuba bbebi olwakaabyemu n’ayanguwa okussaawo eky’enjala nti erabika y’emukaabya.
Mu ddakiika ezitaaweze na 6 omusajja yabadde amaze okunsomera nga bwe musanyusizza n’okufuna ennamba ya ssimu yange mbu okusobola okusigala nga tuwuliziganya.
Yatandise bw’ati. “Muzadde munnange weebale kufaayo ku muyizi. Ojja kunsaasira naye wantutte ebirowoozo okuva lwe nnakulabye. Saagala kukuweera wano Business Card yange kuba oyo agenze okukima enywanto ya bbebi muntu wa ‘Tight Marking’, tayagalira ddala kunninaanya mukazi…..ky’obeera osooka okunkolera nsomera ku nnamba yo ey’essimu kuba tulina okusigala nga tuwuliziganya…. Kozzi ogambye eri 07459026….. omanyi nkyalina ekitone ky’okukwata ennamba z’essimu nga bw’ogyogera teweetaaga kugiddamu gwakubiri…
Eeeee wabula ‘you smell good, so beautiful, smart…. Kankubuuze…… ogenderedde okunkwata ku kugulu kwange ng’oseetuka ku layini….. nze nsigadde nsaba onkwateko n’era n’era….,’’ omuzadde eyang’ambye nti ye Henry bwe yantegeezezza era olwalengedde Madaamu we ng’akomawo n’akyusa emboozi nti abaana bano bw’otobakyalira ku ssomero bayisibwa bubi naddala ab’ekisulo era kiyinza okumukosa
mu nsoma ye.
Maama bbebi naye we yagattiddeko nti kibeera kirungi n’okukwasaganya n’omusomesa n’akubuulira omuyizi w’afuna okusoomooza ne mmulaba engeri gye mumuwabula. Bbebi naye yabadde asirise olwo mummy ne mmuwaana okuzuula amangu ekyabadde kimumazeeko emirembe. Wano kyenkana Henry ne daali we baabadde batuuse awali omusomesa era bakira abbirira oluuso n’antunulako kuba nze nnabadde mbaddirira.
Engeri omutabani gy’akola obulungi mu kibiina saaluddewo nnyo na musomesa kuba
layini y’abazadde yabadde ekyali mpanvuko era mu mpolompola ne nsonseka akabaasa ka mitwalo etaano mu bitabo by’omusomesa nga nkayise ka ‘Airtime’. Olwafulumye ekibiina nnalengedde Henry ne mukazi we nga batambula mpolampola nga bw’akyuka okutunula emabega alabe omu mbagoberera. Emmotoka yange teyabadde wala era olwagituuseeko ne nzigulawo ne ntuula n’omutabani ne nnyongera okwetegereza pulogulaamu y’ekitundu ekisigaddeyo mu usoma lwa ttaamu eyatuweereddwa ku ggeeti nga tuyingira.
Mu ddakiika nga 7 nnafunye ka mesegi ka mobile money nga ka mitwalo 50 akaagobereddwa WhatsApp egamba ‘Omumbejja ng’emmotoka ovuga ya maanyi…. Subaru! Mukwano nzikiriza nkugulireyo ku mafuta amatonotono era ndowooza mesegi zze ku ssimu. Onkoledde olunaku… tujja kuwuliziganya’. Nange nnabadde nnina okumwebaza nti ‘Thanks so much daalingi….nneesunga kuddamu tusisinkane. Wiiki ejja lindirira ebyabbaddewo nga tusisinkanye enkeera w’olwo ku Ssande.