Ssenga

Tukuleetedde ebicamula omukwano

NG’OMUKWANO gutandika, gutera okubeera omwangu ennyo. Era bwe muba mwakeesisinkana, buli kintu kisobola okubawa essanyu n’okubasesa n’ebibanyiiza biba bitono. Abali mu mukwano ogwo bawulira buggya nga buli kimu kipya gye bali si lwakuba nti baba tebalabangako naye gwe guba omulundi gwabwe ogusooka okubeera  n’enkolagana ey’omukwano.

Abaagalana mu ssanyu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NG’OMUKWANO gutandika, gutera okubeera omwangu ennyo. Era bwe muba mwakeesisinkana, buli kintu kisobola okubawa essanyu n’okubasesa n’ebibanyiiza biba bitono. Abali mu mukwano ogwo bawulira buggya nga buli kimu kipya gye bali si lwakuba nti baba tebalabangako naye gwe guba omulundi gwabwe ogusooka okubeera  n’enkolagana ey’omukwano.
Wabula bwe wayita akabanga, olugero lw’abagaalana oluusi lusereba. Okwogerezeganya ne kukendeera. wiikendi ne zifuuka za bulijjo. Kino tekitegeeza nti muba mukyawaganye naye buli omu aba takyewulira munne nga bwe gwali mu kusooka.

Ssenga Barbra Nangendo,  abuulirira abaagalana ng’asinziira Mukono agamba  nti waliwo ekyama abafumbo abawangaalira mu ssanyu kye bakola. Agamba nti essanyu terifa era eriba lisiriseemu, lisobola okuzuukusibwa.
Si ku kunoonya  omuntu omupya asinga okusanyusa, wabula kuyiga ngeri y’okuzzaawo ebicamusa mu maka go.
Ssenga Nangendo, akoonye ku biyinza okubacamusa mu mukwano l Okutona obulabo:Singa mwembi mwetonera ku bulabo, omukwano gwandibanyumira. Atona   ng’assizzaayo ebirowoozo atuuka ku mutima gw’omwagalwa we.
Oluusi tekiba ku buzito bwa kirabo na ssente mmeka, wabula omutima oguwaayo. Okugeza; osobola okudda n’akatambaala ne kasanyusa  omwagalwa wo nga bulijjo  obutambaala bw’alina bukadde ng’ate tafunanga budde bugula bupya ne kimusanyusa nnyo.
l Empuliziganya ennungi: Omukwano gukuumibwa na kuwuliziganya bulungi  mu buli kye mukola. Ne bwe kuba kudda waka, lw’onoddayo ekikeerezi, munno mutegeeze amanye aleme kweraliikirira.
l Okugendako awutu n’okwesanyusaamu: Ssenga Nangendo agamba nti okugendako ‘out’ n’okwesanyusaamu si kw’abavubuka bawuulu bokka, n’abafumbo mukwetaaga. Mufuneeyo akadde mugendeko ‘out’ munyumyemu ku mboozi ez’omukwano ezibazza
obuggya era mwongere okwagalana.
l Okugamba ku mwagalwa wo nti omwagala: Bangi kino bakoma kukyogera nga baakeeraba naye omukwano okugukuuma nga gulimu ebbugumu olina okujjukiza munno nti omwagala buli lunaku nga ne bwe muba mufunyeemu obutakkaanya, kimugambe, afune w’atandikira okwetonda, omukwano gusigalewo.Okukuuma ebijjukizo by’omukwano gwammwe: Abasajja abamu tebaagala kwekubya bifaananyi na bakyala baabwe. Ak’olumu mu mwaka kkiriza kuba ebifaananyi ebyo bikuuma ebijjukizo. Buli bwe mwetunulako gye muvudde, omukwano gulina engeri gye gudda obuggya omwagalwa wo n’omulaba ng’omupya mu maaso go n’empulira eri eyasooka ekomawo olw’ebijukizo ebyo.
l Okujaguza ennaku enkulu ez’omukwano gwammwe nga ez’amazaalibwa, anivasale n’ebirala.
Abakyala babissaako amaanyi okusinga abasajja ate n’abasajja bibanyumira wadde oluusi beefuula abatababiriiko naye bikuuma omukwano nga gutinta.
l Okumanya munno: Omanye ebimunyiiza obyewale ate okole ebimusanyusa.
EBIRALA EBIKUUMA OMUKWANO NGA GUTINTA
1. Empuliziganya ennungi, omukwano nga bwe guba gutandika, empuliziganya eba ennungi era eyo y’esobola okugukuuma nga munno ne bw’akunyiiza,
tomusibira kikookolo wabula mutuula ne mwogera ku bibasoomoza mu bigonjoole.
 . Okusonyiwagana, teri akwana ng’ayomba ng’anyiiza naye tolina kwerabira nti mwenna mulimu bantu era mwesobya kale kikulu nnyo okusonyiwa munno ensobize nga y’emu ku ngeri okukuuma omukwano nga gutinta.
3. Okuwang’ana ekitiibwa: Omwagalwa wo kikulu nnyo okumanyaako ensonga y’okumuwa ekitiibwa naddala nga nga muli mu bantu wewale okumuswaza, kweggamba awaka ne bw’oba toli mwetowaze, bwe mutuuka mu bantu weetowaze era tomuboggolera wadde okumuvvoola oba omuvumira mu bantu.
4. Akaboozi: Amaka ganywera kisenge era bwe kitaba kinywevu, tegaba maggumivu. Okunyumya akaboozi, mmere ya mwami na mukyala, ebakuuma nga batebenkedde emmeeme .
5. Endoowoza y’omwenkanonkano teyandibadde mbi naye erina w’ekoma kusinziira ku ngeri gy’evvuunulwa abantu ab’enjawulo. Teri mukwano gutinta ng’omukyala akajjala ku mwami we. Omwenkanonkano gulina kukozesebwa bulungi okukuuma omukwano
nga gutinta sso si kumeza bakyala biwaawaatiro. 6. Obulambulukufu ku nsimbi z’amaka: Tekitegeeza nti omwami agenda kuleeta ensimbi zonna nga bw’azikola ku mulimu azanjulire omukyala, naye ate wabaawo obulambulukufu obusobola okukolebwa obunnyikiza obwerufu bwa ssente z’ewaka kuba zitabula. 7. Weebale weebale amala ensonga. waliwo abantu abalinda okumala okufuna ebirabo ebinene ennyo, balyoke beebaze. Naye omuntu asiima ne bwe kaba katono azzaamu omwagalwa we amaanyi. Mu mukwano, abasajja be basinga okugaba, oluusi ayinza obutakuwa kakadde ka kuteekako mu nsawo naye bw’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe awaka, mwebaze addemu amaanyi.

Tags: