Ssenga

Obuze abakazi abamu bwe bakola ne bunyiyisa abasajja obufumbo

OBUFUMBO bwa kitiibwa era okubuwangaaza, kizingiramu enneeyisa y’abaagalana ababulimu.

Abaagalana mu kusoberwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OBUFUMBO bwa kitiibwa era okubuwangaaza, kizingiramu enneeyisa y’abaagalana ababulimu.
Omwami n’omukyala, buli omu alina okuwa munne ekitiibwa. Marion Ssentongo, munnakibiina kya Mothers’ Union era kkansala abuulirira abafumbo e Kyengera agamba nti naye oluusi abakyala beerabira nti balina okuyisa abaami baabwe ng’emitwe gy’amaka ne bafuuka bakyetwala mu bufumbo.

Ekikolwa kino kiraga obulagajjavu n’obunyoomi bw’omukyala era ekivaamu, musajja kwetamwa bufumbo. Ssentongo, akoonye ku mize emirala abakazi gye bakola, egyetamisa abasajja obufumbo;
1. Okugeya omusajja n’okwogera ebyama by’omu kisenge kijaabulula ekiitiibwa ky’amaka. B’onyumiza bayinza okubizzaayo ewa balo ne kitta obufumbo bwammwe.
Abakyala tebakoma kugeya baami baabwe nga bwe batalabirira maka gaabwe, bagattako
n’okunyumya eby’omu kisenge.
2. Okwewolaawola mu bubiina olutatadde: Abakyala abamu ennaku zino, bayingira obubiina obutereka ssente, ekitali kibi kyokka abamu bagattako okubwewoleramu ensimbi ze batasobola kusasula. Ekiseera kituuka ne babanjibwa n’omwami ne babimuyingizaamu gy’ataali nga mukazi we yeewola. Kino oluusi kyetamisa abasajja omukwano. Abamu, beegatta mu bubiina buno mu nkukutu era ne beekulaakulanya bokka, awatali kutegeeza ku baami baabwe, bwe baalayirira nti mu bulungi ne mu bubi,
okukuumagana.
3. Okusirikira ssente nga n’abaana balwadde: Abakyala bamu babeera ne ssente kyokka ne mu bwetaavu obw’amangu ng’abaana abalwadde, ne balinda musajja.

4. Okwewanika olw'okuba osinga omusajja ssente: Okugaya omusajja olw’okubaggwe asinga ssente era oyambako okulabirira amaka, kikyamu. Abaami mu butonde baagala ekitiibwa; bw'okimumma, anoonya akimuwa ewalala ne kitta obufumbo bwammwe.
5. Obucaafu n'okugayaala: Buli musajja ayagala omukyala omuyonjo era asikiriza.
Abakyala abamu bwe bafumbirwa ebyokwefaako babivaako n’abasajja ne beetamwa okubeera awaka.
6. Okukuuma obusungu ku mutima n'obutasonyiwa olw’ensobi ezaakolwa kibi. Ssentongo akikkaatiriza nti kino kiggyawo emirembe mu maka. Abamu bassaawo olusirika mu maka mu kifo ky’okutula n’ogonjoola obuzibu kigoba abasajjab awaka.

7. Okutyoboola bataata mu baana ekiviirako abaana okukyawa bakitaabwe n’obutabawa kitiibwa ekittattana ekitiibwa ky’amaka.
8. Okwemulugunya okuyitiridde ku buli nsonga n’obutasiima: Okusojja
omusajja ku buli kimu, kimalako emirembe.
9. Obutakkiriza nsobi: Abakyala abamu bakakanyala ne bagaana okukkiriza ensobi ze bakola mu maka era n’okwetonda nga kino kikuumira amaka mu kukyawagana.
10. Okusula mu masinzizo n'osuulawo obuvunaanyizibwa bwo obw’awaka kikyamu nnyo. Okwagala Katonda n’okumusinza tteeka era buli musajja yandyagadde omukyala atya Katonda, wabula abakyala abamu bakisussa, ne balekewo amaka gaabwe, ne basiiba
mu makanisa.
11. Okwejalabya n’oyonoona ssente ezandibadde zizimba amaka: Kino kitabula
abasajja.
Eriyo n’abakazi abakisussa mu kusabiriza ssente oluusi ekibatwala ne mu bwenzi. Era eriyo abakazi abagattako okucakala okutaliiko kkomo ne bamala ebiseera mu biduula n'ebbaala nga tebassa kitiibwa mu bufumbo olwo abamu ne banywa ne bagangayira. 12. Eriyo n’abakyala abamu, abayingiramu omuze gwa kalogo kalenzi, era omusajja bw’amugwamu, kitta amaka gaabwe.

Tags: