Ssenga

Abalenzi mulabirire abaana be muzaala!

OMWANA ggwe wasooka okwegaana nti si wuwo, lwaki ku matikkira ge wayagadde akusiime. Wamuzaala oli  wa myaka 24 n’osooka okumwegaana ne DNA n’ogaana okugikola.

Abaagalana mu ssanyu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMWANA ggwe wasooka okwegaana nti si wuwo, lwaki ku matikkira ge wayagadde akusiime. Wamuzaala oli  wa myaka 24 n’osooka okumwegaana ne DNA n’ogaana okugikola.
Wagaana okumusomesa olwo bazadde  b’omuwala ne beetikka obuvunaanyizibwa  bw’okumulabirira okutuusa omuwala gwe wamuzaala bwe yafuna omulimu naye

n’atandikira awo. Amulabiridde bulungi era atuuse ku matikkira gen’amala emisomo ne  batutegeeza nga tulina okubaayo.
Kati oyomba nti mu kwogera kwe, teyakwebazizza nga ggwe n’ekirabo kyakulemye okumuwa.
Wabadde oyagala omwana akwebaze ki?
Ab’oludda lw’omuwala be babaddewo ku lw’omwana era tubadde tetumanyi nti yakula okutuuka awo era okutuyita kwe kwatujjukiza.
Watugamba nti omwana wamwesonyiwa ate naffe abazadde ne tukola ensobi ne tumuvaako wadde twamutuuma amannya. Kizibuwalamu omwana ono okukwagala n’omukwano ogwa nnamaddala nga kitaawe kuba mu
bulamu bwe toliimu.Abavubuka, mukomye okuzaala abaana ne mubeegaana ate mudda
ne mulowooza nti abaana abo bagenda kubaagala nnyo. Omwana bw’akula n’akikola obeera n’omukisa. Abaana mubalekera abakyala ne babakuza ne bakulira e bukojja era ng’eyo gy’asobola  kufunira emirembe. Nga gye bamuzaala ajjayo lwa nsonga.
Kati oleeta obusungu ku mwana naye omunenya ki ng’obadde tomufaako. Ate omwana talina musango. Gwe omuzadde oli muntu mukulu era bw’oteeka omwana mu nsiolina okumufaako. Abaana wadde baana bamanyi ekituufu. Oba oli taata kola taata by’alina okukola. Ensobi weeri naye osobola ogiggyawo. Kola omukwano ku mwana okusinga
okwekubagiza n’okuleeta entondo. Ate mugende mpola, bw’olaba omusika nga tajja nga
okireka. Bye tuwoza omwana alina okuyamba bazadde be naffe nga bazadde tulina okulabirira abaana baffe abasobole okutwagala.
Abalenzi mukimanye, abaana buvunaanyizibwa bwammwe temukola ntondo ku matikkira ku be mutaaalabirira

Tags: