NSI kukyuka oba abantu be baagadde ebyobuwangwa bikyuke n’ensi? Okukyalira ensiko kuvudde mu nsiko ne kwesogga akeedi z’omu bibuga ebitali bimu!
Mu akeedi ntegeeza bizimbe ebizimbibwa okukolerwamu bizinensi era nga bitwalibwa nga byabusuubuzi kyokka laba n’okutyaba enku, bwe kuyingidde akeedi zino ne kufuuka bizinensi.
Ssenga Tomusanga annyonnyola nti, okukyalira ensiko kya buwangwa mu Buganda ne mu buwangwa obumu wano mu Uganda ekikolebwa okuwanvuya akatundu akamu ku bitundu by’omukyala eby’ekyama kyokka ng’ekikolwa kino, kikolebwa mu kifo ekyekusifu awatali babalaba.
Abasinga baagendanga mu nsiko era we waava ekikolwa kino okukituuma ‘okukyalira ensiko.’ Oluusi, abawala baakikolanga bagenze kusennya nku. Mu Buganda, okusinga ssenga w’omuwala y’alina okumulagirira engeri gye bakikolamu.
Ssenga bw’ataasobolanga, nga jjajja azaala taata oba omukyala mukwano gwa maama ng’ayambako omuwala. Bwe yabanga ssenga, yannyonnyolanga omuwala
lwaki kikolebwa ne bwe kinaamuyamba ng’atuuse mu bufumbo.
Ssenga era yalagiriranga omuwala ekitundu ky’alina okuwanvuya n’amukuutira okukola ekikolwa kino ng’akidding’ana atere atuuke ku buwanvu obwetaagisa. Yamubuuliranga amazima nti ajja kufunamu obulumi kyokka ng’ebikivaamu birungi. Era yamukuutiranga okukuuma obuyonjo ng’awunda zzaabu we, okwewala okulwaza
ebitundu eby’ekyama.
Ebyakozesebwanga mu kukola emikolo gino, gwabanga muddo kyokka Ssenga Tomusange agamba nti abasinga baakozesanga kitengotengo kuba kyanguya emirimu kyokka abamu nga bakikaaba okulumya ennyo era kirina kukozesebwa na bwegendereza.
Omuddo ogukozesebwa mwe muli; kabbo k’abakyala, ekitonto n’ebika ebirala. Ssenga Tomusange ayongerako nti emiddo emirala egyakozesebwanga mulimu; Nfuli bbiri,n Mukoonola, Ekitontogolo, Kayaayaana n’amalagala ga lumonde nti gano bwe gaakozesebwanga ng’omuwala bw’agattirizaako ebigambo; nti njagala odimbuke nga amalagala. Ebirala ebyakozesebwanga kwaliko; Ekisinziiro kyo n’enfuufu y’omu nju.
Ssenga Tomusanga agamba nti, eddagala lyonna ery’ekinnansi nga linaakozesebwa, omuwala alina okukakasa nti liyonjo era alina okwewala okukozesa ebintu byokya olususu. Agattako nti, omuwala bw’afuna obulumi oba okuzimba okutali kwa bulijjo,
kirungi n’asiriikirizaamu n’alaba n’omukugu amulung’amye.
EMIGASO GY’OKUKYALIRA ENSIKO
l Okukuuma ebbugumu: Ssenga Tomusange agamba nti omulyango gwonna ogutaliiko kateni guyingiza empewo, na bwe kityo kateni zino ziyambako omukyala okukuuma ebbugumu era enku eziba zikyabiddwa, ze zikikola.
l Okusisimula obusimu:
Tomusange agamba nti endongo bw’otogisuna eba eneevaamu etya eddoboozi? Enku oluzikwatako zisisimula obusimu bw’obwagazi mu bakyala.
l Mu bufumbo, enku eziba zaakyabibwa mu buvubuka, zisanyusa abasajja nga bazizannyisa.
l Zongera ku bwagazi mu basajja kuba mu kunyumya akaboozi, zibanyonyoogera olwo emmundu n’eyongera okuseka. Ssenga Irene Namuddu, abuulirira abaagalana ng’asinziira Mukono agamba nti, ebintu bigenze bikyuka kuba mu kukyalira ensiko, baabuuliriranga abawala ne bamanya engeri y’okukikolamu n’emyaka emituufu, mwe kyalina okukolebwa emikolo gino.
Agamba nti mu luwummula luno abaana abamu lwe baatandise, abazadde baasindikanga abaana baabwe mu maka ge beekakasa nti omwana oyo anaayigirayo kye bamusuubiramu okusinziira ku myaka gye.
Abawala bano baatwalibwanga wa ssengaabwe oba jjajja azaala taata, abaababuuliranga eky’okukola. Wabula ensangi zino, bamaama beekengera bassenga olw’okubateebereza
nti bandikola abaana baabwe ebikyamu, era abamu tebakyasindikayo bawala baabwe.
Edda, abawala abavubuka bwe baagendanga mu nku oba ku luzzi, nga beeyawula ku baannaabwe ne bagenda mu nsiko ne
beekolako emikolo egyo.
KIYINGIDDE KITYA AKEEDI?
1. Namuddu agamba nti okukyalira ensiko okwakolebwanga mu nsiko ne mu bibira, edda kyasobokanga kuba waalingawo ebibira, ettale oba mu bikajjo, abawala gye beekwekanga ne bakola omulimu ogwo. Era abawala baayambagananga okukikola. Okukiyingiza akeedi, mulimu abeekwasa nti embeera y’ensi ekyuse, ebibira n’ensiko si byangu bya kusanga.
2. N’abamu ku bawala, bakula kapaalo ne batayigirizibwa era agenda okutuuka mu bufumbo, ng’omwami amubuuza ‘ezinaamuboobereza ettooke’ nga tazirina!
Ekiddirira, ye muwala okupapala nga yeebuuza ky’azzaako, gye biggweera nga yeesozze akeedi ayambibwe. Mu kupapala, anoonya asobola okumukolako.
Kino kizibudde abantu amaaso ne basalawo okutaasa abataakolebwako mikolo mu buto, okukkakkana nga gubafuukidde omulimu ne bafuna n’ebifo ku zi akeedi we bakolera ku bawala n’abakazi ne bavaayo nga baggumidde.
3. Ssenga Tomusange agamba nti, abazadde abamu badibya obuwangw wadde nga bamanyi amakulu gaabwo olwo omwana n’akula nga tamanyi ky’alina kukola kuba abazadde baba tebaamulung’amya.
Bw’akula n’alaba amakulu g’okutyaba enku, ng’anoonya w’asobola okuyambirwa w’agwira ku akeedi, ne zimuyambako okutuukiriza obuvunaanyizibwa. 4. Ssenga Namuddu agamba, okuyambako abakyala mu nsonga eno, mu akeedi kisasulwa buwanana kubanga omuntu agenzeeko mu nsonga, okuggyayo enku ze, kitwala
obudde bungiko n’amaanyi.
OBULABE BWA AKEEDI
Ssenga Tomusange agamba nti omuwala tanyuma kukyalira nsiko ng’atandise okwegatta era edda baatiisanga abawala abato nti bw’onoofuna omusajja nga tokyalidde nsiko, baakukuteeka mu sitenseni enkoko ekuyambeko okububoggyayo. Baakikolanga
batyo okubalaga nti omuntu bw’okula kikalubamu okufuna omuntu omukulu anaakuyambako kuba kya nsonyi omuntu omukulu okulaba enkula y’ekibbo.
l Namuddu agamba nti kirungi omuwala n’atandika okukyalira ensiko nga tanneekoona kagere kuba bw’amala okukeekoona alumizibwa nnyo okutuukiriza ensonga eyo. Kyokka abagenda mu akeedi, baba bantu bakulu.
l Tomusange agamba nti ye eky’okulaba omuwala agenze mu akeedi akitwala ng’ensi okuggwaamu ensonyi kuba si kyangu kkukiriza muntu mukulu munno kukulaba
bwereere bwo nga si mwami wo.
l Abasajja bayingiridde omulimu guno naye teebereza omusajja, bw’akola emikolo gino ku muwala!
l Ssenga Namuddu ayongerako nti eriyo abazadde abagayaavu, abalemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa ku baana baabwe, ne babusindika mu balala era bano bwe bati, be batwala abaana mu akeedi bayambibwe.
ANI ATEEKEDDWA OKUYAMBA OMWANA OKUKYALIRA ENSIKO ?
Ssenga Namuddu agamba nti, omukyala kye kitonde kyokka ekiteekeddwa okuyamba omuwala okukyalira ensiko era asobola okubeera ssengaawe, jjajjaawe omukyala azaala taata oba mukwano gwa nnyina.
Mu buwangwa, maama tateekeddwa kugamba mwana we kukyalira nsiko era bw’akikola aba amuwemudde.
Era tateekeddwa kukebera mwana we kuba abeera amukubye ebisiraani!
Ssenga oba jjajja mukyala asomesa omuwala ng’amulaga nti zino z’enku era bazityaba bwe bati. Oluvannyuma lwa ssenga oba jjajja okumulaga, amusomesa eddagala erikozesebwa olwo ne batandika okutyaba bombi era awo omwana w’aggya amaanyi agatyaba
enku ze ng’alaba ne ssengaawe oba jjajjaawe yatyaba. Kino kyakolebwanga okukakasa
nti omwana atyaba enku mu kifo kyennyini ekituufu kuba bw’otaafangayo, yasobolanga okusooloobya engalo ate n’akwata ebbali w’ekibira! Namuddu awabudde abakyala okutyaba enku ezitaatiise mwami ate era nga teziimumaleemu maanyi kugamba nti ye ng’ono yatyaba obuku butono!
AB’OMU BIZIMBE BWE BAKIKOLA
Mu akeedi oba ebizimbe by’omu kibuga, bafuna akasenge mwe bakolera saaviisi eno olwo eddagala ne libeera mu nsaano. ‘Kasitoma’ ayagala okumukolako, ensonga bazanguya. Abakola saaviisi eno, basaba ssente era y’emu ku bizinensi eziri mu bizimbe bya Kampala.
LWAKI ABANTU BAVUDDE KU NNONO
Ensi edobonkanye. Abantu mu ffamire tebakwatagana nga kizibu atakwagala, ate okukwagalira omwana otuuke n’okumumuwa, amukoleko emikolo gy’ebyobuwangwa.
Era wano, abazadde tebasobodde kufuna bantu babayambira ku baana baabwe, kwe kubaddusa mu bassenga b’e Kampala abasasulwa okubayambira ku baana nga bato so si mwana kusooka kukula ne yeereeta kuba biruma nnyo mu bukulu era byansonyi.
Mu kibuga temuli nsiko nga ne mu byalo gyeri abazadde tebaagala baana baabwe bagendeyo.