Obulabe bwa COVID-19 eri ab'embuto

Aug 31, 2021

OKUSAASAANA kwa ssennyiga omukambwe, Covid-19 mu gwanga, kwongedde obweraliikirivu mu bembuto. Obulwadde buno buziyiza abulina okussa obulungi eky’obulabe eri owoolubuto n’omwana ali munda.

By Deogratious Kiwanuka
Journalist @New Vision

Dr. Moses Muwanga omusawo ku ddwaaliro lya  Ntebe Grade B Hospital ategeezezza  nti obulwadde buno buvaako okukwata kw’omusaayi, naddala mu bembuto, ate omusaayi  bwe gwekwata kyabulabe nnyo olw’ensonga nti emmere maama gy’alya kigikaluubiriza okutuuka obulungi ku mwana.

Okuziyira, Obulabe ssennyiga omukambwe bw'aleeta mulimu okuzimba emimiro empewo y’okussa w’eyitira nga kino kiyinza n’okuvaako omwana ne maama okufa.

Okuvaamu olubuto, Okukaluubirizibwa  mu kussa nokwesiba kw’omusaayi  bye bimu ebiyinza okuvaako olubuto okuvaamu.

Dr. Moses Muwanga

Dr. Moses Muwanga

Dr Muwanga ng'annyonnyola

OBUBONERO OMUKYALA  ALI OLUBUTO BW’ALINA OKWERINDA.

Dr. Muwanga alaze obubonero owoolubuto bw'alina okwerinda:

  • Okukolola
  • Okulwalalwala
  • Okukaluubirizibwa mu kussa
  • Obukoowu oba obunafu obusukkiridde
  • Okulumizibwa omutwe
  • Okulumizibwa mu binywa
  • Okubeera nga towunyiriza

OBUJJANJABI OWOOLUBUTO BW'AFUNA NG'ALINA COVID- 19

Amazzi,  Okunywa amazzi mu bungi nga gano tegaliimu sukaali. Kino kiyamba okukuuma emimiro gy’omulwadde nga si mikalu, kasita  gikala kabonero akalaga nti okussa kwakubeera kuzibu eri alina obulwadde buno.

Okuwummula(Okwebaka), Kuno kuyamba nnyo omwana okukula obulungi n’okutangira sipiidi obulwadde kw’oyinza okubufunira .

O'wolubuto

O'wolubuto

BY’OLINA OKUKOLA MU KISEERA KINO NGA OLI LUBUTO.

  • Obuteetaba mu bifo awakung'aanira abantu abangi
  • Okwambala masiki naddala ng'oli mu bantu
  • Okunaaba engalo ne sabbuuni  buli luvannyuma lw’okukwata ku bintu eby’enjawulo
  • Okulya ennyo ebibala olw’ensonga nti  bijjuddemu ekirungo kya Vitamini c

BINO BYEWALE

Mu kiseera kino nga abantu abasinga batandika enkola y’okwejjanjaba,kyabulabe eri owoolubuto okumala gakozesa ddagala nga tebasoose kwebuuza ku basawo.

Ebimu ku bye balina okwewala:
Okweyoteza,  Kuno ebiseera ebisinga kukosa amawuggwe ng'omukyala ali olubuto tasaanidde kwettanira nkola eno olw'okutaasa obulamu bw’omwana ne maama.
Okugemebwa, Nga tonnagemebwa kyandibadde kirungi okusooka okulaba omusawo n’akulambika ku ngeri gy’olina okwerabiriramu n’okujjanjabwamu.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});