Obulabe bwa COVID-19 eri ab'embuto
Aug 31, 2021
OKUSAASAANA kwa ssennyiga omukambwe, Covid-19 mu gwanga, kwongedde obweraliikirivu mu bembuto. Obulwadde buno buziyiza abulina okussa obulungi eky’obulabe eri owoolubuto n’omwana ali munda.
By Deogratious Kiwanuka
Journalist @New Vision
Dr. Moses Muwanga omusawo ku ddwaaliro lya Ntebe Grade B Hospital ategeezezza nti obulwadde buno buvaako okukwata kw’omusaayi, naddala mu bembuto, ate omusaayi bwe gwekwata kyabulabe nnyo olw’ensonga nti emmere maama gy’alya kigikaluubiriza okutuuka obulungi ku mwana.
Okuziyira, Obulabe ssennyiga omukambwe bw'aleeta mulimu okuzimba emimiro empewo y’okussa w’eyitira nga kino kiyinza n’okuvaako omwana ne maama okufa.
Okuvaamu olubuto, Okukaluubirizibwa mu kussa nokwesiba kw’omusaayi bye bimu ebiyinza okuvaako olubuto okuvaamu.
Dr. Moses Muwanga
Dr Muwanga ng'annyonnyola
OBUBONERO OMUKYALA ALI OLUBUTO BW’ALINA OKWERINDA.
Dr. Muwanga alaze obubonero owoolubuto bw'alina okwerinda:
- Okukolola
- Okulwalalwala
- Okukaluubirizibwa mu kussa
- Obukoowu oba obunafu obusukkiridde
- Okulumizibwa omutwe
- Okulumizibwa mu binywa
- Okubeera nga towunyiriza
OBUJJANJABI OWOOLUBUTO BW'AFUNA NG'ALINA COVID- 19
Amazzi, Okunywa amazzi mu bungi nga gano tegaliimu sukaali. Kino kiyamba okukuuma emimiro gy’omulwadde nga si mikalu, kasita gikala kabonero akalaga nti okussa kwakubeera kuzibu eri alina obulwadde buno.
Okuwummula(Okwebaka), Kuno kuyamba nnyo omwana okukula obulungi n’okutangira sipiidi obulwadde kw’oyinza okubufunira .
O'wolubuto
BY’OLINA OKUKOLA MU KISEERA KINO NGA OLI LUBUTO.
- Obuteetaba mu bifo awakung'aanira abantu abangi
- Okwambala masiki naddala ng'oli mu bantu
- Okunaaba engalo ne sabbuuni buli luvannyuma lw’okukwata ku bintu eby’enjawulo
- Okulya ennyo ebibala olw’ensonga nti bijjuddemu ekirungo kya Vitamini c
BINO BYEWALE
Mu kiseera kino nga abantu abasinga batandika enkola y’okwejjanjaba,kyabulabe eri owoolubuto okumala gakozesa ddagala nga tebasoose kwebuuza ku basawo.
Ebimu ku bye balina okwewala:
Okweyoteza, Kuno ebiseera ebisinga kukosa amawuggwe ng'omukyala ali olubuto tasaanidde kwettanira nkola eno olw'okutaasa obulamu bw’omwana ne maama.
Okugemebwa, Nga tonnagemebwa kyandibadde kirungi okusooka okulaba omusawo n’akulambika ku ngeri gy’olina okwerabiriramu n’okujjanjabwamu.
No Comment