Amawulire

Omwana ow’emyezi 2 afiiridde mu muliro n'obukadde 60 mmye

OMWANA ow'emyezi n'ekitundu afiiridde mu muliro e Kawempe n'obukadde 60 ne busaanawo.

Nabbosa Lubbowa ow'emyezi ebiri n'ekitundu eyafudde, ssente ezaasigaddewo ne Babirye nnyina w'omugenzi..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Moses Lemisa

OMWANA ow'emyezi n'ekitundu afiiridde mu muliro e Kawempe.

Babirye Jackline Rechael ne Umar Lubowa  abatuuze b'omu  Ssebina zooni  be baafiriddwa omwana Nabbosa Lubowa,  enju bwe yakutte omuliro  n'ebintu byonna ne bisaanawo 

Babirye  yagambye yabadde mu ffumbiro n'awulira muwala we ow'emyaka esatu ng’amuyita nti maama omukka, yaddukiddewo yagenze okutuuka mu nju okutaasa beebi we ow’emyezi  ebiri n’ekitundu  yasanze omuliro mungi n'aguyingiramu era yasanze ataawa .

Ku Bukadde Obusoba Mu 60 Zino Ze Ssente Eziringa Ezaatasiddwaako

Ku Bukadde Obusoba Mu 60 Zino Ze Ssente Eziringa Ezaatasiddwaako

Yayongeddeko nti abatuuze baamuyambyeko ne baddusa omwana mu kalwaliro k’okumpi ne babagobawo ne bagenda e Mulago naye ne babasindika e Kiruddu ng’omwana gye yafiiridde nga munju tebaasigazza kintu.

Umar Lubowa,  Defensi wa Kibe Zooni, kitaawe w’omwana  yagambye nti yabadde taliiwo, baamukubidde ssimu, yagenze okutuuka nga bamututte mu ddwaaliro  n'ebintu byonna mu nju okuli n’ebiwandiiko by'ettaka, kaadi ya pikipiki  ne  60,300,000/- byasirikkidde mu nju byonna.

Lubowa Kitaawe W'omwana Mu Jaketi Enzirugavu, Ku Kkono Ye Steven Kisirinnya  Omu Ku Bagezezaako  Okutaasa.

Lubowa Kitaawe W'omwana Mu Jaketi Enzirugavu, Ku Kkono Ye Steven Kisirinnya Omu Ku Bagezezaako Okutaasa.

Wabula ekyaviriddeko omuliro tekinnateregeereka . Ye omwana yaziikiddwa e Namayumba mu disitulikiti y'e Wakiso .

Steven Kisirinny,a  akolera ku siteegi ya Kasiringi   yagambye  nti  bwe baalabye omukka  baasoose kulowooza nti oba guva ku bbaala, twadduse, twagenze okusanga ng’omwana agamba nnyina maama omukka twayingidde ne tugezaako okutaasa omwana .

Ensonda zaategeezezza nti omuliro gwavudde ku masannyalaze amajingirire agabbibwa bakamyufu mu kitundu kino .

 

 

Tags:
Omwana
afiiridde
muliro
obukadde 60