Bazadde b’abaana ba kiggala balaajanidde gavumenti okusoosowaza olulimi olw’obubonero mu masomero okuyamba ku baana abatali ba kiggala okumanya bwe bayinza okuwuliziganya nabo kye basuubira okumalawo embeera ey’okweetya n’obutekkiririzaamu basobole okufuuka ab’obuvunaanyzibwa mu biseera byaabwe eby’omumaaso.
Bino babitegeezezza ab’ekitongole ki National Association for parents of deaf Children ekikulembeddemu kaweefube w’okubabangula ku nkozesa ey’obubonero bwe bayinza okukoseza eri abaana baabwe abavubuka.
Bagambye nti basanze okusoomoozebwa olw’abaana baabwe okweyawula ku baanaabwe olw’obutabaawo mpuliziganya wakati waabwe ekibaleetera okwenyikaala, abamu ne batuuka n’okwaagala okwegya mu bulamu.
Ali Ndiyagasha ng’ono y’omu ku bazadde ategeezezza nti olulimi olw’obubonero lwandibadde lwa nkizo nnyo mu masomero okuyamba ku baana baabwe okubanguyiza mu bye babayigiriza mu masomero obutabeera bipya mu maaso gaabwe.
Abazadde b'abaana abaliko obulemu
“Abaana baffe bafuna okusomoozebwa naddala mu kiseera nga batandise okusoma nti buli kibeera kibayigirizibwa kibeera kipya mu maaso gaabwe, tusaba nti gavumenti yandituteereddewo enkola eyinza okutuyambako ng’abazadde okumanya olulimi luno olw’obubonero ate era lussibwe ne mu masomero okuyamba ku baana abalala abawulira bwe bayinza okwogerezeganyaamu ne bannaabwe abazaalibwa mu ngeri eno.”Ndiyagasha bw’agambye.
Abazadde abalala abakyala abakulembeddwa Annet Nakamatte baalombozze ennaku gye bayiseemu okuva lwe bazaala abaana baabwe abatawulira omuli abaami baabwe okubasuulawo n’okubalekera obuvunanyizibwa obw’okubalabirira.
Dr Sam Lutalo Kiyingi akalaatidde abazadde bano okwewala okutulugunya abaana bano olw’eneeyisa yaabwe eva ku mbeera gye balimu, n’abakalataatira okubasembeza basobole okubeeyabiza begyemu okutya kwe babeera nakwo.
Peace Ikiriza ategeezezza ng’ekitongole kino bwe kyavaayo okumalwo obuzibu obw’empulizigyanya wakati w’omuzadde n’omwana nga kwogasse n’okubayambako okubayigiriza emirimu egy’omumutwe omuli okutunga n’emirala basobole okwebeezaawo.