Omwana awemukidde Bataata be abakaayanira emmaali ya Nnyaabwe n’abalumiriza okuwa omukadde obutwa obwamutta

Oct 22, 2023

Omwana awemukidde Bataata be abakaayanira emmaali ya nyabwe n’abalumiriza nti baakola olukwe okuwa omukadde obutwa.

NewVision Reporter
@NewVision

Omwana awemukidde Bataata be abakaayanira emmaali ya nyabwe n’abalumiriza nti baakola olukwe okuwa omukadde obutwa.

Kino kitabudde Bataata ne balumba omutabani ono bamuyiseemu empi n’addukawo.

Bino bibadde ku kyalo Kiteredde mu ggombolola y’e Kayunga mu disitulikiti y’e Kayunga.

Batabani b’omugenzi Hajati Naggita Mwajuma eyafa mu 2021 nga yazaala abaana mukaaga, babadde mu lukiiko nga bakaayanira emmaali ya nyabwe gyeyagabana ewabwe okuli ettaka yiika 20, poloti n’enyumba mu bifo ebyenjawulo.

Kiggwe Bamulumirizza Okutema Nankya Muka Kiyega. Ekif; Saul Wokulira

Kiggwe Bamulumirizza Okutema Nankya Muka Kiyega. Ekif; Saul Wokulira

Abaana b’omugenzi okuli Musitafa Kiggwe ne Dr. Yusuf Kiwala banenya Abudu Kiyega okwekomya ebintu bya nyabwe n’agobamu baganda be abalala n’abakwatira n’amajambiya.

Kiwala ne Kiggwe bagambye nti nyabwe yafa mulwadde bwa nimoniya (pneumonia)

Wabula ye Kiyega olukiiko yalwebalamye n’asindikayo mutabani we Meddie Wakaabu alumike ebyogerwa era baabadde bakyayanja ensonga nga bwe banenya Kiyega okwefuga ebintu n’okubakwatira amajambiya wano mutabani we Wakaabu kwe kubalya ekimuli n’abajjukiza nti omu ku bataata be abakaayanira emmaali yalungira omukadde obutwa wabula n’abutebuka.

Wakaabu bwe yemmuludde nga Bataata be batabuse yasalinkirizza mu kasooli ppaka mu luguudo n’abuukira Bbodaboda n’emwongerayo.

Kiwala (ku Kkono) Nga Awerekereza Mutabani Wabwe Wakaabu (mu Saati Ey'ebikuubo) Ebigambo. Ekif; Saul Wokulira

Kiwala (ku Kkono) Nga Awerekereza Mutabani Wabwe Wakaabu (mu Saati Ey'ebikuubo) Ebigambo. Ekif; Saul Wokulira

Olukiiko lubadde lukubirizibwa Collins Kafeero avunaanyizibwa ku maka n’eddebe ly’obuntu e Kayunga era nga lwetabiddwamu Abapoliisi; Isa Katongole nga ye OC wa Kayunga town council police station, Muhammed Ssebuliba owa poliisi n’omuntu wa bulijjo n’abakulira eggombolola y’e Kayunga abakulembedde Godfrey Mabonga.

Bamulekwa bagamba nti bwe bagenda mu maka ga Nnyabwe babakwatira bajambiya n’olwekyo tebajja kulinda kuyiwa musaayi.

Bamulekwa bagamba nti wadde mu nga abaana balabise okuseerebwa kubanga abamu beewa ebitundu binene babawe ebyo kubanga abamu baagala kutunda.

Abasirikale Katongole ne Ssebuliba balabudde ab’oluganda bano abakaayana bakomye okukwata amajambiya kubanga musango gwa nnaggomola.

Collins Kafeero alabudde Kiyega okukomya okukola ku banne effujjo era n’amulagira aweeyo ebintu bya Nnyaabwe bye yeekomya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});