Abasiraamu batabukidde Sheikh Shaban Mubajje mu kusaala Eid ku Old Kampala
Apr 10, 2024
OKUSALA Eid Elftri ku muzikiti gwa Old Kampala kubuutikiddwa obunkenke ekiwaliriza amaggye n’abakuuma ddembe ababadde mu ngoye za bulijjo okuyingira omuzikiti okukuuma emirembe n’okutangira ababadde baagala okukola effujjo nga mufuti Sheik Ramadan Mubajje akulembeddemu okusaala.

NewVision Reporter
@NewVision
OKUSALA Eid Elftri ku muzikiti gwa Old Kampala kubuutikiddwa obunkenke ekiwaliriza amaggye n’abakuuma ddembe ababadde mu ngoye za bulijjo okuyingira omuzikiti okukuuma emirembe n’okutangira ababadde baagala okukola effujjo nga mufuti Sheik Ramadan Mubajje akulembeddemu okusaala.
Wabadde waakayita eddakiika ntono nga mufuti Mubajje, awa obubaka bwe, olwo amaloboozi agamungoola ne gatandika okuva mu bantu era mufuti n'atandika okusaba abantu okusirika ng’abwalagira abatanyumirwa byayogera okufuluma wabweru.
Tebamulinze kumalayo bigambo bibakakkanya etundutundu ly’omuzikiti okuva e mabega ne basituka ne batandika okuleekanira waggulu nti ‘Takubiiriii’, wano Mubajje n'atandika okwogera ekigambo kimu security security.
Okusaala Eid ku old Kampala
Era abasirikale ababadde mu ngoye ez’abaulijjo okubadde n’abali mu makanzu g’ekisiraamu abadde batudde ne bayimirira ne batandika okumwetoloola nga bwalagira abantu okukakkana.
Kimaze eddakiika nga ssatu ng’amaloboozi agangoola gali waggulu ekiwaliriza n’amaggye okuyingira omuzikiti era ekitundu ekibadde kisigaddeyo kyonna kiweddeko ng’abebyokwerinda bali butiribiri.
Olw’amaloboozi amangi Mubajje awaliriziddwa okukomya okwogera kwe bunnambiro era n’akulemberamu okusaala wakati mu bukuumi obw’amaanyi nga tewali muntu akirizibwa kumala gasembera wali mubajje.
Ab'ebyokwerinda nga bali mukusaala Eid ku Old Kampala
Mubajje mu kwogera kwe akubiriza abasiraamu okwewala ebikola ebitabulatabula emirembe era n’abakuutira okusigaza empisa ze babadde nazo mu kiseera ky’ekisiibo.
Oluvannyuma lw’okusaala wabadde okw’ogera okwenjawulo okw’omumyuuka wa mufuti Ali Waiswa, ono avumiridde ebikolwa eby’okwelumaluma n’okulwanagana mu basiraamu n’asaba ababikola okubikomya.
Wabula wadde ebino bibaddewo tekirobedde bantu nkumi na nkumi kwetaba mu kusaala ng’omuzikiti gujjudde ne gubooga n’olujja ne lujjula n’abamu ne batuuka okusaalirako mu kisaawe ky’essomero lya Old Kampala
No Comment