Amawulire

Minister w'abavubuka n'abaana Balaam Baruhagara atongozza emisinde gya Makererere University run 2024

MINISITA w’abavubuka n’abaana Balaam Barugahara atongozza emisinde gya Yunivasite y'e Makerere egiyitibwa Mak Run egy'omwaka 2024. Mukutongoza emisinde gino yeegatiddwako n'omu kubaali abaddusi nnakinku mu ggwanga, Dorcus Nzikuru, eranga bano basinzidde wali mu kibangirizi kya Yuvivasite eno ekya Freedom Square okukola omukolo ogugitongozezza.

Balaam ng'atongoza emisinde
By: Jackson Sewanyana, Journalists @New Vision

MINISITA w’abavubuka n’abaana Balaam Barugahara atongozza emisinde gya Yunivasite y'e Makerere egiyitibwa Mak Run egy'omwaka 2024. Mukutongoza emisinde gino yeegatiddwako n'omu kubaali abaddusi nnakinku mu ggwanga, Dorcus Nzikuru, eranga bano basinzidde wali mu kibangirizi kya Yuvivasite eno ekya Freedom Square okukola omukolo ogugitongozezza.

Bw’abadde awa obubaka bwe, Balaamu akubirizza abavubuka okwenyigira mukukola bizninensi ne bwebabeera nga bakyali ku ssomero, eranga abawadde eky’okubalirako nti naye mukaseera weyabeerera ng’akakkalabya emisomo gye ku Yunivasite y’e Makerere yali mu Bizinensi y’obuwunga n’ebijanjaalo ng’abiguza Yunivasite eno.  

Balaam ng'abuuza ku bakungu be Makerere

Balaam ng'abuuza ku bakungu be Makerere

Kulw’okuddukanya obulungi bizinensi zaabwe, era abasabye okwettanira enteekateea za gavumenti ezirimu okuwola ssente naddala enteekateeka y’a ssente z’abavubuka eza “Youth Livelihood”. Wabula abasabye okufubangako okuzangayo ssente zebababa baggyeeyo nebavubuka bannaabwe basobole okuzeewola.

Ku lw’emisinde gino okubeera egyembala atenga minyuvu, Baalam asabye akola ng’akulira Yunivasite y’e Makerere Polof. Barnabas Nawangwe awandiikire omukulebeze w’eggwanga Museveni y’aba abeera omuddusi omukulu.

 “nηenda kukolagana ne Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja tukunge n’abakungu ba gavumenti abalala bonna abasomerako e Makerere bawagire ateera benyigire mu misinde gino”, Bw’ati Balaam bwe Yayongeddeko.

Nawangwe ategeezezza nti emisinde gino gigenda kuddukibwa nga August 18, 2024, eranga  ekigendererwa kyagyo kya kuwanirira/kuwagira abayizi abaliko obulamu. Kale ensimbi ezinaakuηηanyizibwa mu baguze obujoozi bwabwe obw’okuddukiramu emisinde gino, bagenda kubuzimbamu ekizimbe eky’abayizi kwebagenda okussa ekifo eky’enjawulo eky’abayizi abaliko obulemu obw’ebika ebitali bimu. “Tulina abayizi nga 300 abaliko obulemu obw’enjawulo be twagala nabo babeere ku Yunivasite nga beeyagala”, Bw’ati Nawangwe Bweyayongeddeko