SIPIIKA wa palamenti Anita Annet Among era nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Bukedea ategeezezza nga bw’atatya kuvuganyizibwa kubanga ye mumativu nti akalulu waakukawangulira waggulu ku bitundu 98 ku 100.
Sipiika eggulo yalangiriddwa okuddamu okuvuganya ku kifo ekisanja eky’okusatu era nga akulira okulondesa mu Bukedea Charles Joel Mugenyi ono yamutegeezezza nga bwe watannavaayo muntu yenna kumuvuganya nga bwanaaba alabise waakutegeezebwa.
Ku kitebe kya disitulikiti we yasunsuliddwa yayaniriziddwa eyali omumyuka w’omukulembezze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, minisita omubeezi ow’eby’emizannyo Peter Ogwang, ababaka ba palamenti okwabadde Shartisi Musherure, Patrick Isiagi, Muhammad Ssentayi, Ibanda Rwemulikye n’abalala.
Mugenyi Ono yamutegeezezza nti bwe wanaabawo omulala amwesimbyeko ajja kumutegeeza nga mukadde ako yabadde tannafuna kutegeezebwa kwonna nti waliwo omuntu omulala ajja.
Yamusabye obutawenja kalulu mu kadde kano okutuusa nga 12 omwezi ogujja wabula nga yakiriziddwa okwogerako eri abalonzi be .
Ku balala abaasunsundwa kwabaddeko omubaka wa Kachumbala County, Patrick Opoloti Isiagi ne Okwere David Bichamu ku kya Bukedea County.
Sipiika Among yasabye abantu be nti bwekiba kisoboka bamukomyewo nga tavuganyiziddwa kubanga byakoze byeyogerera era enkulakulana mu kitundu erabibwako.