Ab’e Najjanankumbi balaajana olw’ebinnya mu luguudo

Vivien Nakitende
Journalist @Bukedde
Nov 17, 2021

ABATUUZE b’e Najjanakumbi balaajana olw’oluguudo lwa Ganaafa, olwayonooneka olw’enkuba eyabomola emyala nga kati emmotoka tezikyasobola kuluyitako.
Luno lwe lumu ku nguudo ezisinga obuwanvu mu muluka gwa Najjanankumbi I, mu munisipaali y’e Lubaga, oluva ku luguudo lwa Kiwanuka okumpi ne Entebbe
Road ne lugatta ku luguudo lw’e Busaabala.
Vicky Makula, kkansala omukyala ow’omuluka gwa Najja I, agamba nti oluguudo luno
luyamba nnyo okukendeeza ku kalippagano k’ebidduka era lukozesebwa abantu bangi. Agamba nti enkuba ebadde etonnya obutasalako yabomola emyala ne gyabika nagyo ne gibomola oluguudo ne lujjamu ebinnya ebinene ekiremesa abeebidduka okuluyitako nga bodaboda zokka ze zisobola okuwaliriza okulukozesa.
Agamba nti obubbi bweyongedde mu kitundu kino kubanga oluguudo lukozesebwa abantu batono ng’ababbi abanyaga abakozesa bodaboda n’abatono abatambuza ebigere.
Abatuuze bagamba nti beetaaga okussaamu ebigoma ebipya n’okuyiwamu ettaka lya malamu.
Makula yagambye nti ng’omukulembeze, yasazeewo okuwandiikira Town Clerk wa
Lubaga ku nsonga eno, nga baagala okufuna ebigoma ebinene biteekebwemu n’oluguudo lwennyini luteekebwemu malamu oba luyiibwemu kkoolaasi kubanga
bizinensi z’abantu nnyingi zifudde n’emmotoka z’ebyamaguzi tezikyalina
we ziyita.
Oluguudo luno okwonooneka lukosa ebyentambula ku bantu abakozesa oluguudo lw’e Ntebe. Mmeeya wa Lubaga, Zacchy Mawula Mberaze yagambye nti, bali mu nteekateeka okuyiwa malamu mu luguudo luno n’okuteekamu ebigoma okulaba
nga lutereera luddemu okutambuza ebidduka.
Yasabye abantu abali mu bitundu awali enguudo ezoonoonese okubeera abagumiikiriza,
kubanga ekizibu ky’enguudo kiri ku mwanjo nnyo mu bigenda okukolebwako mu kisanja kino

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});